Add parallel Print Page Options

10 Ayongera n’agamba nti,

“Mukama ku lubereberye wassaawo omusingi gw’ensi,
    era n’eggulu mirimu gwa mukono gwo.
11 (A)Ebyo biriggwaawo, naye ggwe olibeerera emirembe gyonna,
    era byonna birikaddiwa ng’ekyambalo bwe kikaddiwa.
12 (B)Era olibizingako ng’ekooti bwe zingibwako,
    era birikyusibwa ng’ekyambalo bwe kikyusibwa.
Naye ggwe oba bumu,
    so n’emyaka gyo tegirikoma.”

Read full chapter

11 (A)Kubanga mu nnaku omukaaga Mukama Katonda mwe yakolera eggulu n’ensi, n’ennyanja, ne byonna ebibirimu, n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu. Mukama kyeyava awa omukisa olunaku olwa Ssabbiiti n’alutukuza.

Read full chapter

26 (A)Muyimuse amaaso gammwe mulabe ebiri ku ggulu.
    Ani eyatonda ebyo byonna?
Oyo afulumya ebyaka eby’omu bbanga afulumya kina kimu,
    byonna nga bwe biri, n’abiyita amannya gaabyo.
Olw’obukulu bw’obuyinza bwe era kubanga wa maanyi ga nsusso,
    tewali na kimu kibulako.

Read full chapter