Add parallel Print Page Options

(A)Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu,
    mutunuulire ensi wansi!
Kubanga eggulu lirivaawo ng’omukka
    n’ensi ekaddiwe ng’ekyambalo.
    Abagituulamu balifa ng’ensowera.
Naye obulokozi bwange bunaabeereranga emirembe gyonna,
    so n’obutuukirivu bwange tebujjulukukenga.

Read full chapter

11 (A)Eggulu liryo, n’ensi yiyo;
    ensi yonna gwe wagitonda ne byonna ebigirimu.
12 (B)Watonda obukiikakkono n’obukiikaddyo;
    ensozi Taboli ne Kerumooni zitendereza erinnya lyo.
13 Oli wa buyinza bungi nnyo; omukono gwo gwa maanyi,
    omukono gwo ogwa ddyo gunaagulumizibwanga.

Read full chapter

(A)Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda,
eyatonda eggulu n’alibamba.
    Eyayanjuluza ensi ne byonna ebigivaamu;
awa omukka abantu baakwo
    era n’obulamu eri bonna abagitambulirako.

Read full chapter

(A)Mukama ategeka omuwendo gw’emmunyeenye;
    era buli emu n’agituuma erinnya.

Read full chapter

16 (A)Tunula mu muzingo gwa Mukama osome.

Tewali na kimu ku ebyo ekiribulayo,
    era ekirume kiriba n’ekikazi, n’ekikazi ne kiba n’ekirume.
Akamwa ka Mukama ke kalagidde,
    era Omwoyo we yalibikuŋŋaanya.

Read full chapter