Add parallel Print Page Options

14 (A)Abanguwa tebaliwona,
    n’ab’amaanyi tebalikuŋŋaanya maanyi gaabwe
    era n’omuzira nnamige talisobola kuwonya bulamu bwe.
15 (B)Omukubi w’obusaale omukugu taliyimirira kunywera,
    n’omuserikale ow’ebigere nnakinku talisobola kuwenyuka.
    Abo abasajja abazira abeebagazi b’embalaasi tebalisobola kuwonya bulamu bwabwe.

Read full chapter

13 (A)Mwegendereze temugamba nti, ‘Tusanze omuntu ow’amagezi;
    muleke Katonda amuwangule so si bantu.’

Read full chapter

10 (A)Weesiga obutali butuukirivu bwo,
    n’olowooza nti, ‘Siriiko annondoola.’
Amagezi go era n’okumanya kwo byakuwabya,
    bwe wayogera nti, ‘Nze ndiwo, era teri mulala wabula nze.’

Read full chapter

23 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Omusajja omugezi aleme kwenyumiririza mu magezi ge,
    oba omusajja ow’amaanyi okwenyumiririza mu maanyi ge
    oba omugagga mu bugagga bwe.

Read full chapter

14 (A)Omugezi amaaso ge gali mu mutwe gwe,
    naye atalina magezi atambulira mu kizikiza.
Kyokka ne ntegeera
    nga bombi akabi kabatuukako.

Read full chapter

18 (A)Naye ojjukiranga Mukama Katonda wo, kubanga y’akuwa obuyinza okufuna obugagga, alyoke atuukirize endagaano ye gye yalayirira bajjajjaabo, nga bwe kiri leero.

Read full chapter