Zabbuli 49:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Kubanga n’abantu abagezi bafa;
abasirusiru n’abatalina magezi bonna baaggwaawo,
obugagga bwabwe ne babulekera abalala.
Engero 17:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Omuntu omutegeevu, ebirowoozo abissa eri amagezi,
naye amaaso g’omusirusiru gasamaalirira ensi gy’ekoma.
Omubuulizi 3:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Kubanga ekituuka ku baana b’abantu kye kituuka ne ku nsolo; omuntu afa, n’ensolo n’efa. Bonna bassa omukka gwe gumu; omuntu talina nkizo ku nsolo. Byonna butaliimu.
Read full chapter
Omubuulizi 6:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 omusajja oyo ne bw’awangaala emyaka enkumi bbiri, naye n’atasanyukira mu bya bugagga bwe. Bombi tebalaga mu kifo kye kimu?
Read full chapter
Omubuulizi 7:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Kirungi okulaga mu nnyumba ey’abakungubaga
okusinga okulaga mu nnyumba ey’ebyassava.
Kubanga buli omu wa kufa,
ekyo kiteekwa okuba ku mutima gwa buli muntu.
Omubuulizi 9:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Bonna ekibalindiridde kimu; kano ke kabi akabeera wansi w’enjuba. Ate emitima gy’abantu mu bulamu buno giraluse gijjudde ebibi, bayaayaanira buli kimu; n’oluvannyuma ne bakka emagombe eri bannaabwe.
Read full chapter
Omubuulizi 9:11-12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Ate nalaba nga wansi w’enjuba,
ng’ow’embiro ennyingi si y’awangula mu mpaka,
era ne kirimaanyi si y’awangula olutalo,
ng’ate bakalimagezi bonna si be baatiikirira;
wabula ng’omukisa gukwata bukwasi oyo
aba aliwo mu kifo ekituufu ne mu kiseera ekituufu.
12 (B)Kubanga omuntu tamanya kinaamubaako.
Ng’ekyenyanja bwe kikwatibwa mu muyonjo,
oba ennyonyi nga bw’egwa ku mutego,
n’abaana b’omuntu bwe batyo bwe beesanga mu biseera eby’akabi,
ebibatuukako nga tebabyetegekedde.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.