Add parallel Print Page Options

22 (A)Byonna kye kimu, kyenva ŋŋamba nti,
    Azikiriza bonna abataliiko musango awamu n’abakozi b’ebibi.

Read full chapter

14 (A)Omugezi amaaso ge gali mu mutwe gwe,
    naye atalina magezi atambulira mu kizikiza.
Kyokka ne ntegeera
    nga bombi akabi kabatuukako.

Read full chapter

(A)Naye tebampuliriza wadde okussaayo omwoyo, wabula buli muntu yeeyongera okutambulira mu bukakanyavu bw’omutima gwe omubi. Ne ndyoka mbaleetako ebikolimo byonna ebiri mu ndagaano gye nabalagira okukwata ne batagikwata.’ ”

Read full chapter

10 (A)Abantu bano aboonoonyi abagaana okukwata ebigambo byange, abagoberera obujeemu bw’emitima gyabwe ne bagoberera bakatonda abalala okubaweereza n’okubasinza, bajja kuba ng’olukoba olwo olutaliiko kye lugasa.

Read full chapter

12 (A)Era mweyisizza bubi n’okusinga bakitammwe. Laba buli omu nga bwe yeeyisa ng’akakanyaza omutima gwe ogujjudde ebibi mu kifo ky’okuŋŋondera.

Read full chapter

(A)Omutima mulimba okusinga ebintu byonna,
    era gulwadde endwadde etawonyezeka.
    Ani ayinza okugutegeera?

Read full chapter

26 (A)Ne beebaka kye kimu mu ttaka,
    envunyu ne zibabikka bombi.

Read full chapter