Add parallel Print Page Options

26 (A)Naye tebampuliriza wadde okunzisaako omwoyo, bakakanyaza ensingo zaabwe era ne bakola ebibi ne basinga ne bajjajjaabwe.

Read full chapter

Ebibonerezo ebiva mu Bujeemu

14 (A)“Naye bwe mutampulirenga, ne mutagondera biragiro ebyo byonna, 15 era bwe munaanyoomoolanga ebiragiro byange ne mukyawa amateeka gange, ne mulemwa okutuukiriza ebiragiro byange ebyo byonna, bwe mutyo ne mutakuumanga ndagaano yange, 16 (B)kale, kino kye ndibakola: Ndibaleetera entiisa eza mangu ez’embagirawo, n’obulwadde obw’olukonvuba obubalumya akasiiso n’omusujja, ebiribaziba amaaso ne bibakamulamu obulamu. Era muliteganira bwereere okusimba ebibala byammwe, kubanga abalabe bammwe be balibirya. 17 (C)Ndibeefuukira, abalabe bammwe n’okubawangula ne babawangula; abo ababakyawa banaabafuganga, ne mudduka n’okudduka so nga tewali abagoba. 18 (D)Oluvannyuma lw’ebyo byonna okubatuukako, era bwe mutaŋŋonderenga, kale ndyongera okubabonereza okusingawo emirundi musanvu, olw’ebibi byammwe. 19 (E)Amalala gammwe n’emputtu ndibibaggyamu, eggulu ne likakanyala ng’ekyuma, n’ettaka ne likaluba ng’ekikomo. 20 (F)Amaanyi gammwe ganaabafanga busa, kubanga ettaka lyammwe teriivengamu mmere yaalyo, wadde emiti egy’omu nsi yammwe okubala ebibala byagyo.

21 (G)“Era bwe muneeyongeranga okutambulira mu makubo ge sikkiriza, ne mugaana okumpulira, ndyongera okubaleetako endwadde nnyingi nga za mirundi musanvu ng’ebibi byammwe bwe byenkana. 22 (H)Era ndibasindikira ensolo ez’omu nsiko, ezinaalyanga abaana bammwe, ne zizikiriza ente zammwe n’omuwendo gwammwe ne gukendeera, nga n’enguudo zammwe tewakyali azitambuliramu.

23 (I)“Era okukangavvula okwo bwe kutaabakyusenga kudda gye ndi, naye ne mweyongera okujeema, 24 kale, nange ndibalaga obukambwe, era nze kennyini ndibeebonerereza emirundi musanvu olw’ebyonoono byammwe. 25 (J)Era nnaabaleeteranga entalo okwesasuza olw’okumenya endagaano. Bwe muneekuŋŋaanyizanga mu bibuga byammwe, nnaabaleeteranga endwadde enkambwe, era n’abalabe bammwe banaabawangulanga. 26 (K)Bwe ndikendeeza ku bungi bw’emmere yammwe, olwo abakazi ekkumi banaabafumbiranga emmere yammwe mu ntamu emu, era buli omu banaamupimirangako akatole katono. Munaalyanga, naye temukkutenga.

27 “N’ebyo byonna bwe binaalemanga okukyusa emitima gyammwe okumpulira, naye ne mweyongera okunjeemeranga; 28 nange nnaabasunguwaliranga, nze kennyini ne mbeebonerereza emirundi musanvu olw’ebibi byammwe. 29 (L)Mulirya batabani bammwe ne bawala bammwe. 30 (M)Ndizikiriza ebyoto bya bakatonda bammwe, ne ntemaatema bakatonda abalala, ne ntuuma emirambo gyammwe ku mirambo gya bakatonda abalala; era ndibakyawa. 31 (N)Ebibuga byammwe binaasigaliranga awo tayo, n’ebifo byammwe ebitukuvu nga tebiriiko abifaako, era n’akaloosa akava mu biweebwayo byammwe tekansanyusenga. 32 (O)Ensi yammwe ndigifuula ddungu n’abalabe bammwe abanaagibeerangamu ne bagyewuunya. 33 (P)Ndibasaasaanyiza mu mawanga ne mbagobereza ekitala kyange. Ensi yammwe erifuuka amalungu n’ebibuga byammwe nga bimenyeddwa. 34 (Q)Awo ettaka ne liryoka lifuna emyaka egya ssabbiiti zaalyo mu bbanga eryo lye lirimala nga tewali alifaako, nga mmwe muli mu nsi z’abalabe bammwe; ettaka ne liwummulako ne lyeyagalira mu ssabbiiti zaalyo ezo. 35 Ebbanga eryo lyonna ettaka lye lirimala nga tewali kikolerwako, liriba n’okuwummula kwe litaafuna mu ssabbiiti ezaayita bwe mwali nga mmwe mulibeerako.

36 (R)“Mu mmwe, abaliba basigaddewo nga bakyali balamu, nditeeka okutya mu mitima gyabwe nga bali eyo mu nsi z’abalabe baabwe, nga n’eddoboozi ly’akakoola k’omuti akafuumuulibwa n’empewo kabatiisa. Banaddukanga ng’abaliko abalabe ab’ebitala ababagoba, banaagwanga newaakubadde nga tewaabeerengawo babawondera. 37 (S)Banaagwaŋŋanangako ng’abadduka okwewonya omulabe ow’ekitala newaakubadde nga tewaabengawo babawondera. Bwe mutyo temuusobolenga kwolekera balabe bammwe. 38 (T)Mulisaanawo mu mawanga; ensi z’abalabe bammwe ziribamira. 39 (U)N’abo ku mmwe abanaabanga basigaddewo banaakoozimbiranga mu nsi z’abalabe bammwe olw’ebibi byabwe, era balikoozimba n’olw’ebibi bya bakitaabwe.

Okuzza obuggya Endagaano

40 (V)“Naye bwe baneenenyanga ebibi byabwe n’ebyonoono bya bakitaabwe n’obunnanfuusi bwabwe gye ndi n’obujeemu bwabwe, 41 (W)ebyandeetera okubalaga obukambwe ne mbasindika ne mu nsi z’abalabe baabwe, era amalala g’emitima gyabwe egitali mikomole bwe galikkakkana ne bakkiriza okukola ebibonerezo olw’ebyonoono byabwe, 42 (X)kale ndijjukira endagaano yange ne Yakobo, ne nzijukira endagaano yange ne Isaaka n’endagaano yange ne Ibulayimu, era ndijjukira n’ensi yaabwe. 43 Naye ensi banaabanga bagivuddemu n’efuna ssabbiiti zaayo kubanga abaagibeerangamu tebakyagirimu. Banaabonerezebwanga olw’ebibi byabwe kubanga baanyoomoolanga amateeka gange ne batagondera biragiro byange.

Read full chapter