Add parallel Print Page Options

(A)Mu mwaka ogw’omunaana ogw’okufuga kwe, ng’akyali muto, n’atandika okunoonya Katonda wa Dawudi jjajjaawe, era mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri n’atandika okuggya ebifo ebigulumivu, ne Baasera, n’ebifaananyi ebyole, n’ebifaananyi ebisaanuuse mu Yuda ne mu Yerusaalemi.

Read full chapter

(A)oyogere nti, ‘Mmwe ensozi za Isirayiri, muwulire ekigambo kya Mukama Katonda. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri ensozi n’obusozi, eri emigga n’ebiwonvu, nti, Nze kennyini ndibaleetako ekitala ne nzikiriza n’ebifo byammwe ebigulumivu.

Read full chapter

(A)Buli gye mubeera ebibuga biriyonoonebwa n’ebifo byammwe ebigulumivu birisaanyizibwawo, n’ebyoto byammwe ne byonoonebwa ne bimenyebwamenyebwa, ne bakatonda bammwe ne bamenyebwamenyebwa ne boonoonebwa, era n’ebyoto byammwe ebyokerwako obubaane ne bimenyebwa ne bye mukoze ne bisaanawo.

Read full chapter

13 (A)Mulitegeera nga nze Mukama, abantu baabwe bwe balisangibwa nga bafiiridde wakati mu bakatonda baabwe be baakola n’emikono okwetooloola ebyoto byabwe, ne ku buli lusozi oluwanvu, ne ku buli ntikko ez’ensozi, ne buli wansi w’omuti oguliko ebikoola, n’omwera oguliko ebikoola, ebifo gye baali nga bootereza obubaane eri bakatonda baabwe be baakola n’emikono.

Read full chapter