Add parallel Print Page Options

(A)Bakatonda baakyo bonna be basinza, balisekulwasekulwa;
    ebintu byonna ebyaweebwayo ng’ebirabo mu yeekaalu biriggya omuliro;
    ndizikiriza bakatonda baakyo bonna be beekolera.
Ng’ebirabo ebyo bwe byafunibwa mu bwenzi,
    bwe bityo bwe biritwalibwa mu bwenzi ne bikozesebwa.”

Read full chapter

(A)“Ku lunaku olwo, ndiggya amannya ga bakatonda abalala okuva mu nsi, galeme kuddayo kujjukirwa, era nzigye bannabbi n’omwoyo ogutali mulongoofu mu nsi,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

Read full chapter

30 (A)Ndizikiriza ebyoto bya bakatonda bammwe, ne ntemaatema bakatonda abalala, ne ntuuma emirambo gyammwe ku mirambo gya bakatonda abalala; era ndibakyawa.

Read full chapter

11 (A)Ne ndyoka njogera nti, “Mukama wange birituusa ddi okuba bwe biti?”

Nanziramu nti,

“Okutuusa ebibuga lwe birizika
    nga tewali abibeeramu,
ne mu mayumba nga temuli muntu,
    ensi ng’esigalidde awo,

Read full chapter

14 (A)“Ndikufuula ekyazikirira era ekivume mu mawanga agakwetoolodde, mu maaso g’abo bonna abayitawo.

Read full chapter