Add parallel Print Page Options

Okulabula Abantu ba Isirayiri

(A)Muwulire ekigambo kino Mukama ky’aboogerako mmwe abaana ba Isirayiri, ennyumba yonna gye naggya mu Misiri.

(B)“Mu bantu bonna abali ku nsi,
    mmwe mwekka be nalonda.
Kyendiva mbabonereza
    olw’ebibi byammwe byonna.”
Abantu ababiri bayinza okutambulira awamu
    wabula nga bakkiriziganyizza?
(C)Empologoma ewulugumira mu kisaka
    nga terina muyiggo?
Empologoma ento ekaabira mu mpuku yaayo
    nga teriiko ky’ekutte?
Akanyonyi kayinza okugwa mu mutego
    nga tewali kikasikirizza?
Omutego gumasuka
    nga teguliiko kye gukwasizza?
(D)Akagombe kavugira mu kibuga
    abantu ne batatya?
Akabenje kagwa mu kibuga
    nga Mukama si y’akaleese?

(E)Naye ddala Mukama Katonda takola kintu kyonna
    nga tasoose kukibikkulira
    baweereza be, bannabbi.

(F)Empologoma ewulugumye,
    ani ataatye?
Mukama Katonda ayogedde
    ani ataawe bubaka bwe?

(G)Langirira eri ebigo by’e Asudodi
    n’eri ebigo by’e Misiri nti,
“Mujje mukuŋŋaanire ku nsozi z’e Samaliya
    mulabe akajagalalo akanene akali eyo
    n’abantu be nga bwe bajoogebwa.”

10 (H)Mukama agamba nti, “Abantu abajjuzza
    ebigo byabwe n’ebintu ebinyage,
    tebamanyi kukola kituufu.”

11 (I)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Omulabe alirumba ensi,
    n’amenyaamenya ebigo byo eby’amaanyi
    era n’abinyagulula.”

12 (J)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ng’omusumba bw’agezaako okutaasa endiga ye okuva mu kamwa k’empologoma
    n’asikayo amagulu abiri obubiri n’ekitundu ky’okutu,
    bwe batyo Abayisirayiri bwe balinunulibwa,
abo abatuula mu Samaliya
    ku nkomerero y’ebitanda byabwe
    ne ku bitanda byabwe mu Ddamasiko.

13 (K)“Muwulirize kino era mulumirize enju ya Yakobo yonna,” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.

14 (L)“Ku lunaku lwe lumu lwe ndibonereza Isirayiri olw’ebibi bye,
    ndisaanyaawo ebyoto by’e Beseri,
n’amayembe g’ekyoto galisalibwako
    ne gagwa wansi.
15 (M)Era ndisaanyaawo ennyumba ebeerwamu mu biseera eby’obutiti,
    awamu n’ennyumba ebeerwamu mu biseera ey’ebbugumu;
era ndimenyaamenya n’ennyumba ezayolebwa n’amasanga,
    ne nsanyaawo n’embiri,”
    bw’ayogera Mukama.