Add parallel Print Page Options

Isirayiri edda obuggya

11 (A)“Mu biro ebyo ndizzaawo
    ennyumba ya Dawudi eyagwa
era ndiddaabiriza ebifo ebyamenyebwamenyebwa,
    ne nzizaawo ebyali amatongo,
    ne biba nga bwe byabeeranga,
12 (B)balyoke batwale ekitundu kya Edomu ekyasigalawo
    n’amawanga gonna ge nayita okuba abantu bange,”
    bw’ayogera Mukama alikola ebintu ebyo byonna.

13 (C)“Ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama,

“akungula lw’alisinga asiga,
    n’asiga ensigo lw’alisinga atunda emizabbibu.
Wayini omuggya alitonnya okuva mu nsozi,
    n’akulukuta okuva mu busozi.
14 (D)Ndikomyawo abantu bange Isirayiri okuva mu buwaŋŋanguse,
    ne bazimba nate ebibuga ebyamenyebwa, babibeeremu.
Balisimba ennimiro zaabwe ez’emizabbibu ne banywa wayini avaamu,
    era balisimba ennimiro balye ebibala byamu.
15 (E)Ndisimba Isirayiri mu nsi yaabwe,
    era tebaliggibwa nate
    mu nsi gye nabawa,”

bw’ayogera Mukama Katonda wammwe.

Read full chapter

(A)Era buli alisigala mu Sayuuni na buli alisigala mu Yerusaalemi aliyitibwa mutukuvu, buli muntu alibalirwa mu balamu mu Yerusaalemi.

Read full chapter