Add parallel Print Page Options

(A)Ne batuula ne balya era ne banywa bonna wamu. Kitaawe w’omuwala n’agamba omusajja nti, “Kaakano kkiriza osule, omutima gwo gusanyukeko.”

Read full chapter

Omusajja bwe yagolokoka okugenda ne mukazi we n’omugole we, mukoddomi we kitaawe w’omuwala n’amugamba nti, “Laba, kaakano obudde buzibye. Sula obudde buyise. Sigala wano weesanyuse, onoogolokoka enkya n’oddayo ewuwo.”

Read full chapter

22 (A)Awo bwe baali nga beesanyusaamu, laba, abasajja ab’omu kibuga ekyo, abaana ab’obutali butuukirivu ne bazingiza ennyumba nga bwe bakoona oluggi. Ne bagamba nannyini nnyumba, omusajja omukadde nga bwe bawowoggana nti, “Fulumya omusajja oyo ayingidde mu nnyumba yo, tumusiyage.”

Read full chapter

28 (A)Awo Abusaalomu n’alagira abaddu be nti, “Muwulire! Mugenderere okulaba Amunoni ng’atudde, n’omutima gwe nga musanyuukirivu; bwe n’abagamba nti, ‘mutte Amunoni,’ mumutte. Temutya, si nze mpadde ekiragiro? Mube n’amaanyi era mube bazira.”

Read full chapter

(A)Yezeberi mukazi we n’amugamba nti, “Bw’otyo bwe weeyisa nga kabaka wa Isirayiri? Golokoka olye! Ddamu amaanyi. Nzija kukufunira ennimiro ya Nabosi Omuyezuleeri ey’emizabbibu.”

Read full chapter

10 (A)Awo ku lunaku olwomusanvu, Kabaka Akaswero mu ssanyu lingi olwa wayini gwe yali anywedde, n’alagira abalaawe musanvu, abaamuweerezanga: Mekumani, ne Bizusa, ne Kalubona, ne Bigusa, ne Abagusa, ne Zesali ne Kalukasi,

Read full chapter