Add parallel Print Page Options

25 (A)Awo bwe baasanyuka ennyo, ne bawowoggana nga bwe bagamba nti, “Mutuyitire Samusooni atusanyuseemu.”

Ne baleeta Samusooni abasanyuseemu, nga bamuggya mu kkomera. Ne bamuyimiriza wakati w’empagi.

Read full chapter

(A)Awo Bowaazi bwe yamala okulya n’okunywa, era nga musanyufu, n’agenda n’agalamira ku mabbali g’entuumo ye ŋŋaano. Luusi naye n’asooba mpola mpola, n’abikkula ku bigere bye, n’agalamira awo kumpi naye.

Read full chapter

18 (A)Ne Merukizeddeeki kabaka wa Ssaalemi[a] eyali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo n’aleeta omugaati n’envinnyo.

Read full chapter

Footnotes

  1. 14:18 Ssaalemi lye liyinzika okuba nga ly’erinnya ekkadde erya Yerusaalemi.

15 (A)Awo ababaka ne banguwa okugenda olw’ekiragiro kya Kabaka, etteeka ne libuulirwa mu lubiri lw’e Susani. Awo Kabaka ne Kamani ne batuula okunywa; naye ekibuga kya Susani ne kisasamala.

Read full chapter

(A)Awo bwe baali banywa wayini, Kabaka n’addamu n’abuuza Eseza nti, “Wegayirira ki era osaba ki? Kinaakuweebwa. Ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka kinaakuweebwa.”

Read full chapter

(A)Ku lunaku olwokubiri bwe baali banywa wayini Kabaka n’addamu n’abuuza Eseza nti, “Nnabagereka Eseza osaba ki? Onookiweebwa. Kiki kye weegayirira? Ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka, kinaakuweebwa.”

Read full chapter

(A)Ggwe Lemweri, si kya bakabaka,
    si kya bakabaka okunywanga omwenge,
    so si kya balangira okwegombanga omwenge,
(B)si kulwa nga bagunywa ne beerabira amateeka,
    ne batalamula mu bwenkanya abantu baabwe abatulugunyizibwa.
(C)Ekitamiiza mukiwenga oyo ayagala okufa,
    n’omwenge oyo alina emmeeme eriko obuyinike.
(D)Mumuleke anywenga yeerabire obwavu bwe,
    alemenga kujjukira nate buyinike bwe.

Read full chapter

Ekiwandiiko ku Kisenge

(A)Kabaka Berusazza n’agabula embaga nnene eri abakungu be lukumi, ne banywa omwenge naye. (B)Awo Berusazza, yali ng’anywa omwenge, n’atumya ebikompe ebya zaabu n’ebya ffeeza, Nebukadduneeza kitaawe bye yaggya mu yeekaalu mu Yerusaalemi, ye n’abakungu be, n’abakyala be n’abazaana be babinyweremu. Era ne baleeta ebikompe ebya zaabu n’ebya ffeeza ebyaggyibwa mu yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, kabaka n’abakungu be, n’abakyala be n’abazaana be ne babinyweramu. (C)Ne banywa omwenge ne batandika okutendereza bakatonda aba zaabu n’aba ffeeza, n’ab’ebikomo, n’ab’ekyuma, n’ab’emiti n’ab’amayinja.

Read full chapter

(A)Awo Kalubona, omu ku balaawe abaali baweereza Kabaka n’ayogera nti, “Waliwo akalabba kumpi ne nnyumba ya Kamani obuwanvu bwako mita amakumi abiri mu ssatu ke yazimba okuttirako Moluddekaayi eyayogera n’awonya obulamu bwa Kabaka.” Kabaka n’agamba nti, “Mumuwanike okwo.”

Read full chapter