Add parallel Print Page Options

Abayisirayiri Balwana n’Ababenyamini

20 (A)Awo abaana ba Isirayiri bonna okuva ku Ddaani okutuuka ku Beeruseba wamu n’ensi ya Gireyaadi ne bakuŋŋaana mu maaso ga Mukama e Mizupa, nga bali omuntu omu. (B)Abakulembeze b’abantu bonna mu bika byonna ebya Isirayiri ne batuula mu bifo byabwe mu kuŋŋaaniro ly’abantu ba Katonda, nga bawera abaserikale abaalina ebitala, emitwalo amakumi ana. Awo abaana ba Benyamini ne bawulira nti Abantu ba Isirayiri bambuse e Mizupa. Abaana ba Isirayiri ne boogera nti, “Ekintu kino eky’ekivve bwe kiti, kyabaawo kitya?”

(C)Omuleevi bba w’omukazi eyattibwa n’addamu nti, “Natuuka e Gibea ekya Benyamini, ne mukazi wange, tusule eyo. (D)Abasajja ab’e Gibea ne bangolokokerako mu kiro, ne bazingiza ennyumba gye twalimu, ne baagala okunzita. Kyokka ne bakwata mukazi wange ne bamusobyako n’afa. (E)Kyennava ntwala mukazi wange ne musalaasala, ne mpeereza ebitundu bye mu buli kifo eky’omugabo gwa Isirayiri, kubanga baakola ekikolwa eky’obugwenyufu era eky’ekivve. (F)Kaakano mmwe abaana ba Isirayiri mwenna, musaleewo eky’okukola.”

Awo abantu bonna ne bagolokoka nga bali omuntu omu, ne boogera nti, “Tewali muntu mu ffe aliddayo ewuwe. Tewali aliddayo mu nnyumba ye. (G)Naye kaakano ekintu kye tulikola Gibea okumulwanyisa, kwe kumukubira akalulu. 10 Abantu kkumi ku bantu kikumi okuva mu bika byonna ebya Isirayiri, n’abalala kikumi ku bantu olukumi, n’abalala lukumi ku bantu omutwalo ogumu bagende bafunire eggye ebyetaago. Eggye bwe lirituuka e Gibea eky’e Benyamini balyoke bababonereze ng’ekikolwa kyabwe eby’obugwenyufu bwe kiri, kye baakola mu Isirayiri.” 11 (H)Awo abantu bonna aba Isirayiri ne bakuŋŋaana ne baba omuntu omu, ne balumba ekibuga.

12 Ebika bya Isirayiri ne bituma ababaka mu kika kyonna ekya Benyamini, nga babuuza nti, “Kikolwa ki eky’ekivve ekyakolebwa wakati mu mmwe? 13 (I)Kale kaakano muweeyo abasajja abaana b’ebikolwa ebitali bya butuukirivu abali mu Gibea tubatte, tuggyewo ekibi mu Isirayiri.”

Naye abaana ba Benyamini ne bagaana okuwuliriza eddoboozi ly’abaana ba Isirayiri. 14 Awo abaana ba Benyamini ne bakuŋŋaanira mu Gibea nga bava mu bibuga byonna, bagende balwanyise abaana ba Isirayiri. 15 Ku lunaku olwo, abaana ba Benyamini ne bavaayo okuva mu bibuga abasajja abalina ebitala emitwalo ebiri mu kakaaga. 16 (J)Mu bantu abo bonna mwalimu abasajja abalondemu lusanvu abakozesa kkono. Buli omu ku bo yayinzanga okuteeka ejjinja mu nvumuulo ekube oluviiri, n’atasubwa.

17 Abasajja ba Isirayiri, nga totaddeeko abava mu Benyamini, ne bakuŋŋaana abasajja abalwanyi abasitula ebitala, emitwalo amakumi ana. 18 (K)Abaana ba Isirayiri ne bagolokoka ne bayambuka e Beseri ne beebuuza ku Katonda nga bagamba nti, “Ani ku ffe alisooka okugenda okulwanyisa abaana ba Benyamini?” Mukama n’abaddamu nti, “Yuda yalisooka.”

19 Abaana ba Isirayiri ne bagolokoka mu makya ne basiisira okumpi ne Gibea. 20 Abasajja ba Isirayiri ne bagenda okulwanyisa Benyamini, n’abasajja ba Benyamini ne basimba ennyiriri okulwanyisa abasajja ba Isirayiri e Gibea. 21 (L)Abaana ba Benyamini ne bava mu Gibea ne batta abasajja ba Isirayiri emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu lutalo ku lunaku olwo. 22 Naye abantu bazzaamu abasajja ba Isirayiri amaanyi, ne baddayo ne basimba ennyiriri mu kifo mwe baali ku lunaku olwasooka. 23 (M)Awo abaana ba Isirayiri ne bambuka ne bakaabira Mukama okutuusa akawungeezi. Ne beebuuza ku Mukama nti, “Tuddeyo tulwanyise baganda baffe abaana ba Benyamini?” Mukama n’abaddamu nti, “Mugende mubalwanyise.”

24 Ku lunaku olwokubiri Abayisirayiri ne basembera okulwanyisa Ababenyamini. 25 (N)Ababenyamini ne bavaayo ne balumba okuva e Gibea, ne batta abaana ba Isirayiri abalala omutwalo gumu mu kanaana mu lutalo ku lunaku olwo olwokubiri; Abayisirayiri abo bonna baalina ebitala.

26 (O)Awo abaana ba Isirayiri bonna n’abantu bonna, ne bambuka okulaga e Beseri, ne bakaabira Mukama Katonda ne batuula eyo mu maaso ge ne basiiba olunaku olwo okutuusa akawungeezi, lwe baawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe mu maaso ga Mukama. 27 (P)Abaana ba Isirayiri ne beebuuza ku Mukama Katonda, kubanga essanduuko ey’endagaano ya Katonda yaliyo mu biro ebyo, 28 (Q)nga Finekaasi mutabani wa Eriyazaali, muzzukulu wa Alooni yaweereza mu maaso ga Mukama Katonda. Ne bamwebuuzaako nga bagamba nti, “Tuddeyo tulumbe baganda baffe abaana ba Benyamini oba tetuddayo?” Mukama n’abaddamu nti, “Mugende kubanga enkya nzija kubagabula mu mukono gwammwe.”

29 (R)Awo Abayisirayiri ne bateegera ku njuyi zonna eza Gibea. 30 Ku lunaku olwokusatu abaana ba Isirayiri ne bambuka okulwanyisa abaana ba Benyamini ne basimba ennyiriri nga boolekedde Gibea ng’olulala. 31 (S)Abaana ba Benyamini ne bavaayo okubalwanyisa ne basikirizibwa okuva mu kibuga, ne batandika okukuba n’okutta ng’olulala, nga bava ku luguudo olumu okudda e Beseri, ne ku lulala oludda e Gibea mu nnimiro. Ne batta abasajja Abayisirayiri ng’amakumi asatu.

32 (T)Abaana ba Benyamini bwe baagambanga nti, “Tubawangula nga luli bwe kyali ku mulundi ogwasooka,” Abayisirayiri bo ne beeteesa nti, “Tuddeyoko emabega, tubasikirize okubaggya mu kibuga badde mu nguudo.” 33 (U)Abasajja bonna aba Isirayiri ne bava mu nnyiriri zaabwe mu bifo byabwe, ne badda e Baalutamali. Abayisirayiri abaateega ne bafubutuka okuva mu bifo byabwe mu ttale erya Gibea. 34 (V)Awo abasajja omutwalo gumu abaalondebwa okuva mu Isirayiri yonna, ne balumba Gibea ne waba okulwana okw’amaanyi, Ababenyamini ne batamanya nti akabi kabajjidde. 35 (W)Awo Mukama Katonda n’awangula Benyamini mu maaso ga Isirayiri, era ku lunaku olwo abaana ba Isirayiri ne batta Ababenyamini bonna abaalina ebitala, abasajja emitwalo ebiri mu enkumi ttaano mu kikumi. 36 (X)Abaana ba Benyamini ne balaba nga bakubiddwa.

Abasajja ba Isirayiri ne bakolera Ababenyamini ekkubo, nga bo Abayisirayiri beesize abateezi be baali batadde okumpi ne Gibea. 37 (Y)Abaali bateeze ne badduka ne beesogga mu Gibea, ne basaasaana ne batta abaakirimu bonna. 38 (Z)Abasajja ba Isirayiri baali balagaanye n’abaateega nti abateezi bwe banaanyoosa omukka omungi mu kibuga, 39 (AA)abasajja ba Isirayiri abali mu ddwaniro banaakyuka. Mu kiseera ekyo Ababenyamini baali batanudde okukuba n’okutta abasajja ba Isirayiri ng’amakumi asatu, nga luli olwasooka.

Ne bagamba nti, “Ddala ddala tubawangudde nga mu lutalo luli olwasooka.” 40 (AB)Naye omukka bwe gwatandika okunyooka, ekibuga kyonna nga kigya, Ababenyamini ne bakyuka okutunula emabega, laba, ng’ekibuga kyonna kikutte omuliro. 41 Abasajja ba Isirayiri ne babakyukira. Abasajja ba Benyamini ne batya bwe baalaba ng’akabi kabajjidde. 42 Kyebaava badduka abasajja ba Isirayiri nga baddukira mu ddungu, kyokka olutalo ne lubayinza. Buli eyadduka okuva mu bibuga n’afiira wamu nabo. 43 Abayisirayiri ne bazingiza Ababenyamini, ne babagoba okutuukira ddala ku buvanjuba bw’e Gibea we butandikira. 44 (AC)Abasajja abalwanyi abazira Ababenyamini abaafa baali omutwalo gumu mu kanaana. 45 (AD)Ababenyamini bwe baddukira mu ddungu nga boolekedde olwazi lwa Limoni, Abayisirayiri ne batta enkumi ttaano ku bo. Abayisirayiri ne bongera okubagobera ddala okutuuka e Gidomu, era n’eyo ne battirayo abasajja enkumi bbiri.

46 Bwe batyo Ababenyamini bonna abaafa ku lunaku olwo, baali emitwalo ebiri mu enkumi ttaano, bonna abo nga basajja bazira. 47 Naye abasajja lukaaga be baddukira mu ddungu okwolekera olwazi lwa Limoni, ne babeera eyo okumala emyezi ena. 48 (AE)Abasajja ba Isirayiri ne bakyuka ne baddayo eri abaana ba Benyamini ne batta buli kintu ekyali mu kibuga, ne batta ensolo, ne batta buli muntu gwe baasanga mu bibuga byonna bye baalaba, ne babikumako omuliro.

The Israelites Punish the Benjamites

20 Then all Israel(A) from Dan to Beersheba(B) and from the land of Gilead came together as one(C) and assembled(D) before the Lord in Mizpah.(E) The leaders of all the people of the tribes of Israel took their places in the assembly of God’s people, four hundred thousand men(F) armed with swords. (The Benjamites heard that the Israelites had gone up to Mizpah.) Then the Israelites said, “Tell us how this awful thing happened.”

So the Levite, the husband of the murdered woman, said, “I and my concubine came to Gibeah(G) in Benjamin to spend the night.(H) During the night the men of Gibeah came after me and surrounded the house, intending to kill me.(I) They raped my concubine, and she died.(J) I took my concubine, cut her into pieces and sent one piece to each region of Israel’s inheritance,(K) because they committed this lewd and outrageous act(L) in Israel. Now, all you Israelites, speak up and tell me what you have decided to do.(M)

All the men rose up together as one, saying, “None of us will go home. No, not one of us will return to his house. But now this is what we’ll do to Gibeah: We’ll go up against it in the order decided by casting lots.(N) 10 We’ll take ten men out of every hundred from all the tribes of Israel, and a hundred from a thousand, and a thousand from ten thousand, to get provisions for the army. Then, when the army arrives at Gibeah[a] in Benjamin, it can give them what they deserve for this outrageous act done in Israel.” 11 So all the Israelites got together and united as one against the city.(O)

12 The tribes of Israel sent messengers throughout the tribe of Benjamin, saying, “What about this awful crime that was committed among you?(P) 13 Now turn those wicked men(Q) of Gibeah over to us so that we may put them to death and purge the evil from Israel.(R)

But the Benjamites would not listen to their fellow Israelites. 14 From their towns they came together at Gibeah to fight against the Israelites. 15 At once the Benjamites mobilized twenty-six thousand swordsmen from their towns, in addition to seven hundred able young men from those living in Gibeah. 16 Among all these soldiers there were seven hundred select troops who were left-handed,(S) each of whom could sling a stone at a hair and not miss.

17 Israel, apart from Benjamin, mustered four hundred thousand swordsmen, all of them fit for battle.

18 The Israelites went up to Bethel[b](T) and inquired of God.(U) They said, “Who of us is to go up first(V) to fight(W) against the Benjamites?”

The Lord replied, “Judah(X) shall go first.”

19 The next morning the Israelites got up and pitched camp near Gibeah. 20 The Israelites went out to fight the Benjamites and took up battle positions against them at Gibeah. 21 The Benjamites came out of Gibeah and cut down twenty-two thousand Israelites(Y) on the battlefield that day. 22 But the Israelites encouraged one another and again took up their positions where they had stationed themselves the first day. 23 The Israelites went up and wept before the Lord(Z) until evening,(AA) and they inquired of the Lord.(AB) They said, “Shall we go up again to fight(AC) against the Benjamites, our fellow Israelites?”

The Lord answered, “Go up against them.”

24 Then the Israelites drew near to Benjamin the second day. 25 This time, when the Benjamites came out from Gibeah to oppose them, they cut down another eighteen thousand Israelites,(AD) all of them armed with swords.

26 Then all the Israelites, the whole army, went up to Bethel, and there they sat weeping before the Lord.(AE) They fasted(AF) that day until evening and presented burnt offerings(AG) and fellowship offerings(AH) to the Lord.(AI) 27 And the Israelites inquired of the Lord.(AJ) (In those days the ark of the covenant of God(AK) was there, 28 with Phinehas son of Eleazar,(AL) the son of Aaron, ministering before it.)(AM) They asked, “Shall we go up again to fight against the Benjamites, our fellow Israelites, or not?”

The Lord responded, “Go, for tomorrow I will give them into your hands.(AN)

29 Then Israel set an ambush(AO) around Gibeah. 30 They went up against the Benjamites on the third day and took up positions against Gibeah as they had done before. 31 The Benjamites came out to meet them and were drawn away(AP) from the city. They began to inflict casualties on the Israelites as before, so that about thirty men fell in the open field and on the roads—the one leading to Bethel(AQ) and the other to Gibeah. 32 While the Benjamites were saying, “We are defeating them as before,”(AR) the Israelites were saying, “Let’s retreat and draw them away from the city to the roads.”

33 All the men of Israel moved from their places and took up positions at Baal Tamar, and the Israelite ambush charged out of its place(AS) on the west[c] of Gibeah.[d] 34 Then ten thousand of Israel’s able young men made a frontal attack on Gibeah. The fighting was so heavy that the Benjamites did not realize(AT) how near disaster was.(AU) 35 The Lord defeated Benjamin(AV) before Israel, and on that day the Israelites struck down 25,100 Benjamites, all armed with swords. 36 Then the Benjamites saw that they were beaten.

Now the men of Israel had given way(AW) before Benjamin, because they relied on the ambush(AX) they had set near Gibeah. 37 Those who had been in ambush made a sudden dash into Gibeah, spread out and put the whole city to the sword.(AY) 38 The Israelites had arranged with the ambush that they should send up a great cloud of smoke(AZ) from the city,(BA) 39 and then the Israelites would counterattack.

The Benjamites had begun to inflict casualties on the Israelites (about thirty), and they said, “We are defeating them as in the first battle.”(BB) 40 But when the column of smoke began to rise from the city, the Benjamites turned and saw the whole city going up in smoke.(BC) 41 Then the Israelites counterattacked,(BD) and the Benjamites were terrified, because they realized that disaster had come(BE) on them. 42 So they fled before the Israelites in the direction of the wilderness, but they could not escape the battle. And the Israelites who came out of the towns cut them down there. 43 They surrounded the Benjamites, chased them and easily[e] overran them in the vicinity of Gibeah on the east. 44 Eighteen thousand Benjamites fell, all of them valiant fighters.(BF) 45 As they turned and fled toward the wilderness to the rock of Rimmon,(BG) the Israelites cut down five thousand men along the roads. They kept pressing after the Benjamites as far as Gidom and struck down two thousand more.

46 On that day twenty-five thousand Benjamite(BH) swordsmen fell, all of them valiant fighters. 47 But six hundred of them turned and fled into the wilderness to the rock of Rimmon, where they stayed four months. 48 The men of Israel went back to Benjamin and put all the towns to the sword, including the animals and everything else they found. All the towns they came across they set on fire.(BI)

Footnotes

  1. Judges 20:10 One Hebrew manuscript; most Hebrew manuscripts Geba, a variant of Gibeah
  2. Judges 20:18 Or to the house of God; also in verse 26
  3. Judges 20:33 Some Septuagint manuscripts and Vulgate; the meaning of the Hebrew for this word is uncertain.
  4. Judges 20:33 Hebrew Geba, a variant of Gibeah
  5. Judges 20:43 The meaning of the Hebrew for this word is uncertain.