Add parallel Print Page Options

48 (A)Awo kabaka n’akuza Danyeri n’amufuula omuntu omukulu ennyo, n’amuwa n’ebirabo bingi. N’amufuula mufuzi w’essaza lyonna erya Babulooni, n’amuwa n’obuvunaanyizibwa obw’okukulira abasajja abagezigezi bonna ab’e Babulooni.

Read full chapter

11 (A)Waliwo omusajja mu bwakabaka bwo alimu omwoyo gwa bakatonda abatukuvu. Mu mirembe gya kitaawo yasangibwa okuba n’okutegeera, n’amagezi, ng’aga bakatonda, era Kabaka Nebukadduneeza kitaawo, n’amufuula omukulu w’abasawo, n’abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi. 12 (B)Omusajja oyo Danyeri, kabaka gwe yatuuma Berutesazza, yasangibwa ng’alina omwoyo ogw’okutegeera, n’okumanya, n’okulootolola ebirooto, n’okubikkula ebigambo eby’ekyama, n’okutta ebibuuzo ebizibu ennyo. Kale Danyeri ayitibwe, anaakutegeeza amakulu g’ekiwandiiko.”

Read full chapter