Add parallel Print Page Options

(A)Naye oluvannyuma Danyeri gwe natuuma Berutesazza ng’erinnya lya katonda wange bwe liri, era nga n’omwoyo ogwa bakatonda abatukuvu guli mu ye, n’ajja mu maaso gange ne mutegeeza ekirooto.

(B)Ne mugamba nti, “Berutesazza, omukulu w’abafumu, mmanyi ng’omwoyo ogwa bakatonda abatukuvu guli mu ggwe, so tewali kigambo eky’ekyama ekikuzibuwalira. Ntegeeza ekirooto kyange, n’amakulu gaakyo.

Read full chapter

Danyeri Avvuunula Ekirooto

19 (A)Awo Danyeri eyayitibwanga Berutesazza n’atawanyizibwa mu mutima okumala akabanga, ne yeeraliikirira. Kabaka n’amugamba nti, “Berutesazza, ekirooto n’amakulu gaakyo bireme okukweraliikiriza.”

Berutesazza n’addamu nti, “Mukama wange, ekirooto kibe nga kyogera ku abo abakukyawa, n’amakulu gaakyo gabe nga googera ku balabe bo!

Read full chapter

14 Bantegeezezza ng’omwoyo wa bakatonda abatukuvu ali mu ggwe, era olaba ebitalabibwa bantu abaabulijjo, otegeera era oli w’amagezi amasukkirivu.

Read full chapter

17 (A)Abavubuka abo abana, Katonda n’abawa amagezi n’okutegeera eby’okuyiga eby’engeri zonna; Danyeri n’asukkirira mu kutegeera okw’okuvvuunula okwolesebwa okw’engeri zonna, n’ebirooto.

Read full chapter

47 (A)Kabaka n’agamba Danyeri nti, “Mazima Katonda wo ye Katonda wa bakatonda era ye Mukama wa bakabaka, era omubikkuzi w’ebyama ebyakisibwa, kubanga osobozebbwa okututegeeza ekyama ekyakisibwa.”

48 (B)Awo kabaka n’akuza Danyeri n’amufuula omuntu omukulu ennyo, n’amuwa n’ebirabo bingi. N’amufuula mufuzi w’essaza lyonna erya Babulooni, n’amuwa n’obuvunaanyizibwa obw’okukulira abasajja abagezigezi bonna ab’e Babulooni.

Read full chapter