Add parallel Print Page Options

30 (A)n’ayogera nti, “Ono si ye Babulooni omukulu gwe nazimba n’amaanyi gange amangi okuba ekibuga ekikulu eky’ekitiibwa eky’obwakabaka bwange?”

Read full chapter

18 Gamba kabaka era ne namasole nti,
    “Mukke muve ku ntebe zammwe ez’obwakabaka,
kubanga engule zammwe ez’ebitiibwa
    zijja kugwa okuva ku mitwe gyammwe.”

Read full chapter

12 (A)Tunuulira buli musajja ow’amalala omukkakkanye
    era olinnyirire abakozi b’ebibi obabetentere we bali.

Read full chapter

13 (A)Wayogera mu mutima gwo nti,
    “Ndirinnya mu ggulu,
ndigulumiza entebe yange
    okusinga emunyeenye za Katonda;
era nditeeka entebe yange waggulu ntuule
    ku lusozi olw’okukuŋŋaanirako ku njuyi ez’enkomerero ez’obukiikakkono;
14 (B)ndyambuka okusinga ebire we bikoma,
    ndyoke nfuuke ng’oyo ali waggulu ennyo.”
15 (C)Naye ossibbwa wansi emagombe,
    ku ntobo y’obunnya.

Read full chapter