Add parallel Print Page Options

Ekirooto kya Danyeri eky’Ensolo Ennya

(A)Mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Berusazza kabaka w’e Babulooni, Danyeri n’aloota era n’ayolesebwa ng’agalamidde ku kitanda kye. N’awandiika byonna bye yaloota.

(B)Danyeri n’ayogera nti, “Mu kwolesebwa kwange ekiro, nalaba empewo ez’omu ggulu nnya nga zisiikuula ennyanja ennene, (C)n’ensolo enkambwe nnya ez’ebika eby’enjawulo ne ziva mu nnyanja.

(D)“Eyasooka yali mpologoma ng’erina ebiwaawaatiro eby’empungu. Awo bwe nnali nga nkyagitunuulira, ebiwaawaatiro byayo ne bigikuunyuukako, n’esitulibwa, n’eyimirira ku magulu abiri ng’omuntu, n’eweebwa omutima ogw’omuntu.

(E)“Ate ne ndaba ensolo enkambwe eyookubiri, eyali ng’eddubu. N’esitulibwa ku luuyi olumu era yalina embiriizi ssatu mu kamwa kaayo, n’eragirwa nti, ‘Situka olye ennyama nnyingi.’

(F)“Oluvannyuma ne ndaba ensolo enkambwe endala eyali ng’engo, ng’erina ebiwaawaatiro bina eby’ennyonyi, ng’erina n’emitwe ena, n’eweebwa n’obuyinza okufuga.

Read full chapter

(A)Awo ne ndaba ekifaanana ng’ennyanja etangalijja ng’eri ng’endabirwamu erimu omuliro, era ku nnyanja eyo kwali kuyimiriddeko abo abaali bawangudde ekisolo n’ekifaananyi kyakyo awamu n’akabonero ak’omuwendo gwakyo, nga bakutte ennanga Katonda ze yabawa.

Read full chapter

(A)Awo ne ndaba ekyewuunyo ekirala mu ggulu, era laba, ogusota ogumyufu nga gulina emitwe musanvu n’amayembe kkumi era nga ku mitwe egyo kuliko engule musanvu.

Read full chapter

Kabaka Eyeegulumiza

36 (A)“Kabaka alikola nga bw’ayagala. Alyenyumiriza ne yeegulumiza okusinga katonda yenna, era alyogera ebitawulikikangako ku Katonda wa bakatonda. Aliba mugagga okutuusa ebiro eby’obusungu lwe birituukirira, kubanga ekyasalibwawo kiteekwa okutuukirira.

Read full chapter