Add parallel Print Page Options

11 (A)Mutabani w’omukazi Omuyisirayiri n’avvoola Erinnya lya Mukama, era n’akolima. Ne bamuleeta eri Musa. Nnyina ye yali Seromisi, muwala wa Dibuli ow’omu kika kya Ddaani.

Read full chapter

Kyokka mukyala we n’amugamba nti, “Okyagugubidde ku butuukirivu bwo? Weegaane Katonda ofe!”

Read full chapter

14 Omuntu bw’afa, addamu n’abeera omulamu?
    Ennaku zange zonna ez’okuweereza
    nnaalindanga okuwona kwange kujje.

Read full chapter

31 (A)Naye abo abalindirira Mukama
    baliddamu buggya amaanyi gaabwe,
balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu;
    balidduka mbiro ne batakoowa,
    balitambula naye ne batazirika.

Read full chapter