Add parallel Print Page Options

16 (A)kale, kino kye ndibakola: Ndibaleetera entiisa eza mangu ez’embagirawo, n’obulwadde obw’olukonvuba obubalumya akasiiso n’omusujja, ebiribaziba amaaso ne bibakamulamu obulamu. Era muliteganira bwereere okusimba ebibala byammwe, kubanga abalabe bammwe be balibirya.

Read full chapter

16 (A)Okukaaba kw’embalaasi z’omulabe kuwulirwa mu Ddaani;
    ensi yonna yakankana olw’okukaaba kw’embalaasi.
Bajja okuzikiriza
    ensi ne byonna ebigirimu,
    ekibuga ne bonna abakibeeramu.

Read full chapter

32 (A)Batabani bo ne bawala bo banaagabibwanga mu baamawanga amalala ng’olaba; onoobanoonyanga buli lunaku okutuusa n’amaaso lwe ganaakumyukanga, naye nga tolina maanyi kubaako na kya kukola.

Read full chapter

(A)Buli eyabasanganga nga abatulugunya;
    abalabe baabwe ne bagamba nti, ‘Tetulina musango gwe tuzza,
kubanga baajeemera Mukama Katonda, obuddukiro bwabwe obwa nnama ddala,
    ye Mukama, essuubi lya bakitaabwe.’ 

Read full chapter

17 (A)“Isirayiri kisibo kya ndiga ezisaasaanye,
    empologoma kye zigobye.
Eyasooka okumulya
    yali kabaka wa Bwasuli;
eyasembayo okumenya amagumba ge
    yali Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.”

Read full chapter

31 Sseddume zo zinattirwanga mu maaso go, naye toolyenga ku nnyama zaazo. Endogoyi zo zinabbirwanga mu maaso go, so tebaazikuddizenga. Endiga zo zinaaweebwanga abalabe bo, ne watabaawo adduukirira okuzikuddiza.

Read full chapter

33 (A)Ab’eggwanga ly’otomanyi banaalyanga ebibala by’ettaka lyo by’onoobanga weerimidde, toobengako na kya kukola wabula okutulugunyizibwanga buli kiseera.

Read full chapter