Add parallel Print Page Options

Amateeka g’Ebyobufumbo

24 (A)Omusajja bw’anaawasanga omukazi, naye oluvannyuma n’amukyawa, kubanga amuvumbuddeko ebitamusanyusa, bw’atyo n’amuwandiikira ebbaluwa ey’okumugoba, n’agimukwasa, n’amugoba mu nnyumba ye, omukazi oyo anaayinzanga okwefunira omusajja omulala n’amufumbirwa. Omusajja ono owookubiri naye bw’anaamukyawanga n’amuwandiikira ebbaluwa ey’okumugoba, n’agimukwasa, n’amugoba mu nnyumba ye, oba omusajja oyo owookubiri bw’anaafanga; (B)bba eyasooka, eyali amugobye takkirizibwenga kuddamu kumuwasa kuba mukazi we, kubanga omukazi oyo anaabanga amaze okwebaka n’omusajja omulala. Ekyo kinaabanga kya kivve mu maaso ga Mukama. Totwalanga kibi mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obutaka bwo obw’enkalakkalira.

Amateeka Agatali Gamu

(C)Omusajja bw’anaabanga yaakawasa taalondebwenga kugenda kutabaala oba okuweebwa omulimu omulala omunene ng’ogwo. Anaasigalanga mu maka ge okumala ebbanga lya mwaka mulamba ng’asanyusa mukazi we gw’anaabanga awasizza.

Omuntu bw’awolanga munne n’amusaba omusingo, oba akakalu, tamuggyangako lubengo oba enso ng’omusingo oba akakalu, kubanga mu musingo ng’ogwo, aba atwaliddemu obulamu bwa munne.

(D)Omuntu bw’anaakwatibwanga ng’awamba, obanga atunda Omuyisirayiri munne mu buddu, kale omuwambi anattibwanga. Bw’otyo bw’onoomalangamu ekibi wakati mu mmwe.

(E)Bwe wanaagwangawo obulwadde obw’olususu ng’obw’ebigenge, weegenderezanga nnyo, n’ogonderanga ebyo Abaleevi, bakabona, bye banaabalagiranga okukola, nga bwe mbalagidde. (F)Ojjukiranga Mukama Katonda wo kye yakola Miryamu nga muli mu lugendo lwammwe nga muva mu Misiri.

10 Bw’owolanga munno ekintu eky’engeri yonna, toyingiranga mu nnyumba ya munno oyo okunonamu omusingo. 11 Ggwe awoze onaabeeranga wabweru n’olindirira oyo gw’onoobanga owoze, okukuleetera omusingo ogwo. 12 Gw’owoze bw’anaabanga omwavu, ekyambalo ky’anaabanga akuwadde ng’omusingo, tosulanga nakyo. 13 (G)Enjuba bw’eneebanga yaakagwa, onookiddizanga munno oyo alyoke akyebikke ekiro nga yeebase. Bw’atyo anaakwebazanga era kinaabanga kikolwa kya butuukirivu mu maaso ga Mukama Katonda wo.

14 (H)Toyiikirizanga mwavu n’omupakasi ali mu kwetaaga, n’olwawo okumusasula empeera ye; ne bw’anaabanga Omuyisirayiri munno oba ow’okubannamawanga abanaabeeranga mu nsi yo nga basula mu kimu ku bibuga byo. 15 (I)Onoomusasulanga empeera ye eya buli lunaku ng’enjuba tennaba kugwa, kubanga mwavu n’omutima gwe gubeera ku mpeera eyo. Kubanga bw’onoomulagajjaliranga, anaayinzanga okukaabirira Mukama Katonda n’akuloopayo, bw’otyo onoogwanga mu musango ogw’ekibi.

16 (J)Bakitaabwe b’abaana tebattibwenga nga babalanganga abaana baabwe, n’abaana tebattibwenga nga babalanganga bakitaabwe; buli omu anattibwanga ng’alangibwanga ekibi kye ye yennyini.

17 (K)Bannamawanga b’onoobeeranga nabo, n’abaana bamulekwa, obasaliranga emisango gyabwe n’obwenkanya, era totwalanga kyambalo kya nnamwandu ng’omusingo. 18 Ojjukiranga nga bwe wali omuddu mu Misiri, naye Mukama Katonda wo n’akununulayo. Kyenva nkulagira okukolanga bw’otyo.

19 (L)Bw’onookungulanga ebibala mu nnimiro yo ne weerabirayo ekinywa mu nnimiro, toddangayo kukikima. Onookirekeranga omunnaggwanga oba omwana omufuuzi oba nnamwandu; bw’atyo Mukama alyoke akuwenga omukisa mu byonna by’onookolanga. 20 (M)Bw’onookubanga emizeeyituuni okuva ku miti gyo, toddangayo ku matabi mulundi gwakubiri okumalirako ddala ebibala ebinaabanga bisigaddeko. Ebyo binaabanga bya bannamawanga, n’abaana bamulekwa ne bannamwandu. 21 Bw’onookungulanga emizabbibu okuva mu nnimiro yo, toddangamu mulundi gwakubiri. Ebibala ebinaabanga bisigaddeko onoobirekeranga bannamawanga, ne bamulekwa ne bannamwandu. 22 (N)Ojjukiranga nga bwe wali omuddu mu nsi ey’e Misiri; kyenva nkulagira okukolanga bw’otyo.

24 If a man marries a woman who becomes displeasing to him(A) because he finds something indecent about her, and he writes her a certificate of divorce,(B) gives it to her and sends her from his house, and if after she leaves his house she becomes the wife of another man, and her second husband dislikes her and writes her a certificate of divorce, gives it to her and sends her from his house, or if he dies, then her first husband, who divorced her, is not allowed to marry her again after she has been defiled. That would be detestable in the eyes of the Lord. Do not bring sin upon the land the Lord(C) your God is giving you as an inheritance.

If a man has recently married, he must not be sent to war or have any other duty laid on him. For one year he is to be free to stay at home and bring happiness to the wife he has married.(D)

Do not take a pair of millstones—not even the upper one—as security for a debt, because that would be taking a person’s livelihood as security.(E)

If someone is caught kidnapping a fellow Israelite and treating or selling them as a slave, the kidnapper must die.(F) You must purge the evil from among you.(G)

In cases of defiling skin diseases,[a] be very careful to do exactly as the Levitical(H) priests instruct you. You must follow carefully what I have commanded them.(I) Remember what the Lord your God did to Miriam along the way after you came out of Egypt.(J)

10 When you make a loan of any kind to your neighbor, do not go into their house to get what is offered to you as a pledge.(K) 11 Stay outside and let the neighbor to whom you are making the loan bring the pledge out to you. 12 If the neighbor is poor, do not go to sleep with their pledge(L) in your possession. 13 Return their cloak by sunset(M) so that your neighbor may sleep in it.(N) Then they will thank you, and it will be regarded as a righteous act in the sight of the Lord your God.(O)

14 Do not take advantage of a hired worker who is poor and needy, whether that worker is a fellow Israelite or a foreigner residing in one of your towns.(P) 15 Pay them their wages each day before sunset, because they are poor(Q) and are counting on it.(R) Otherwise they may cry to the Lord against you, and you will be guilty of sin.(S)

16 Parents are not to be put to death for their children, nor children put to death for their parents; each will die for their own sin.(T)

17 Do not deprive the foreigner or the fatherless(U) of justice,(V) or take the cloak of the widow as a pledge. 18 Remember that you were slaves in Egypt(W) and the Lord your God redeemed you from there. That is why I command you to do this.

19 When you are harvesting in your field and you overlook a sheaf, do not go back to get it.(X) Leave it for the foreigner,(Y) the fatherless and the widow,(Z) so that the Lord your God may bless(AA) you in all the work of your hands. 20 When you beat the olives from your trees, do not go over the branches a second time.(AB) Leave what remains for the foreigner, the fatherless and the widow. 21 When you harvest the grapes in your vineyard, do not go over the vines again. Leave what remains for the foreigner, the fatherless and the widow. 22 Remember that you were slaves in Egypt. That is why I command you to do this.(AC)

Footnotes

  1. Deuteronomy 24:8 The Hebrew word for defiling skin diseases, traditionally translated “leprosy,” was used for various diseases affecting the skin.