Add parallel Print Page Options

30 (A)Onooyogerezanga omukazi, n’osembereranga n’okumuwasa, naye omusajja omulala anaakumutwalangako n’asulanga naye. Oneezimbiranga ennyumba naye toogisulengamu. Oneesimbiranga ennimiro z’emizabbibu, naye toolyenga ku bibala byamu.

Read full chapter

10 (A)Noolwekyo bakazi baabwe
    ndibagabira abasajja abalala
n’ennimiro zaabwe
    zitwalibwe abantu abalala.
Bonna ba mululu okuva ku asembayo wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,
    nnabbi ne kabona bonna balimba ne babba abantu.

Read full chapter

22 (A)Abakazi bonna abasigadde mu lubiri lwa kabaka wa Yuda bajja kuleetebwa eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, bakugambe nti,

“ ‘Mikwano gyo gye weesiga
    baakubuzaabuza ne bakuwangula.
Kaakano otubidde mu ttosi.
    Mikwano gyo gikudduseeko.’ 

Read full chapter

25 (A)Noolwekyo obusungu bwa Mukama Katonda bubuubuukira ku bantu be,
    n’agolola omukono gwe n’abasanjaga,
ensozi ne zikankana
    era n’emirambo gyabwe ne gibeera ng’ebisasiro wakati mu nguudo.

Naye wadde nga biri bwe bityo, obusungu bwa Mukama Katonda tebunnakakkana
    era omukono gwe gukyagoloddwa.

Read full chapter