Ekyamateeka Olwokubiri 32:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Lwe lwazi, emirimu gye mituukirivu,
n’ebikolwa bye byonna bya bwenkanya.
Ye Katonda omwesigwa, ataliiko bukuusa,
omwenkanya era omutereevu mu byonna.
Zabbuli 71:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Onfuukire olwazi obuddukiro bwange,
ekifo eky’amaanyi;
ondokole
kubanga oli lwazi lwange era ekiddukiro kyange.
Zabbuli 31:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Nga bw’oli olwazi lwange era ekigo kyange;
olw’erinnya lyo onkulembebere era onnuŋŋamye.
Zabbuli 91:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Nnaayogeranga ku Mukama nti, Oli kiddukiro kyange era ekigo kyange;
ggwe Katonda wange gwe nneesiga.
Zabbuli 144:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Mukama anjagala ye Katonda wange era kye kiddukiro kyange,
ge maanyi gange amangi era ye mulokozi wange.
Ye ngabo yange mwe neekweka.
Awangula amawanga n’agassa wansi w’ebigere byange.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.