Add parallel Print Page Options

71 (A)Mu ggwe, Ayi Mukama, mwe neekweka,
    tondeka kuswazibwa.
(B)Mu butuukirivu bwo ondokole, omponye;
    ontegere okutu ondokole.
(C)Onfuukire olwazi obuddukiro bwange,
    ekifo eky’amaanyi;
ondokole
    kubanga oli lwazi lwange era ekiddukiro kyange.
(D)Ayi Katonda wange omponye mu mukono gw’ababi,
    omponye abantu abatali batuukirivu era abakambwe.

(E)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, ggwe ssuubi lyange;
    ggwe, ggwe neesiga, okuviira ddala mu buvubuka bwange.
(F)Neesiga ggwe kasookedde nzalibwa;
    ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange.
    Nnaakutenderezanga ennaku zonna.
(G)Eri abangi nafuuka;
    naye ggwe kiddukiro kyange eky’amaanyi.
(H)Akamwa kange kajjudde ettendo lyo,
    nga ntenda ekitiibwa kyo obudde okuziba.

(I)Tonsuula mu kiseera kyange eky’obukadde.
    Tondekerera ng’amaanyi gampweddemu.
10 (J)Kubanga abalabe bange banjogerako;
    abo abaagala okunzita bansalira olukwe.
11 (K)Bagamba nti, “Katonda amulese,
    ka tumugobe tumukwate,
    kubanga taliiko anaamuwonya.”
12 (L)Ayi Katonda, tombera wala, Ayi Katonda wange,
    yanguwa ojje ombeere.
13 (M)Abo abampawaabira bazikirizibwe nga bajjudde ensonyi,
    abanoonya okunnumya baswale
    era banyoomebwe.

14 (N)Naye nze nnaabanga n’essuubi ennaku zonna.
    Era nneeyongeranga okukutenderezanga.

15 (O)Akamwa kange kanaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu obudde okuziba;
    nnaayogeranga ku bulokozi bwo,
    wadde siyinza kubupima.
16 (P)Nnaatambuliranga mu maanyi go, Ayi Mukama Katonda,
    era ne ntegeezanga nti ggwe wekka ggwe mutuukirivu.
17 (Q)Ayi Katonda, ggwe wanjigiriza okuva mu buvubuka bwange;
    n’okutuusa leero nkyatenda ebikolwa byo eby’ekitalo.
18 (R)Ne bwe ndiba nga nkaddiye nga mmeze n’envi,
    tonjabuliranga, Ayi Katonda,
okutuusiza ddala nga mmaze okutendera abo abaliddawo amaanyi go amangi,
    n’okumanyisa emirembe egigenda okujja obuyinza bwo.

19 (S)N’obutuukirivu bwo, Ayi Katonda, butuuka mu ggulu.
    Ggw’okoze ebikulu,
    Ayi Katonda, ani akwenkana?
20 (T)Newaakubadde wandeka ne mbonaabona nnyo bwe ntyo,
    ggw’olinzizaamu obulamu,
n’ompa amaanyi amaggya,
    n’onnyimusa okuva mu kinnya ekiwanvu ennyo wansi w’ensi.
21 (U)Olinnyongerako ekitiibwa
    n’oddamu okunsanyusa.

22 (V)Nnaakutenderezanga ne nnanga ey’enkoba
    olw’obwesigwa bwo, Ayi Katonda wange;
nnaakutenderezanga n’entongooli,
    Ayi ggwe Omutukuvu wa Isirayiri.
23 (W)Nnaayimusanga eddoboozi lyange olw’essanyu
    nga nkutendereza,
    nze gw’onunudde!
24 (X)Olulimi lwange nalwo lunaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu
    obudde okuziba,
kubanga abo ababadde baagala okunkola akabi
    otabuddetabudde enkwe zaabwe ne baswazibwa.