Add parallel Print Page Options

27 (A)Mukama anaabasaasaanyanga mu mawanga amalala, era erisigalayo batono mu mmwe abalibeera mu nsi ezo Mukama Katonda gy’anaabanga abasindiikirizza.

Read full chapter

64 (A)Mukama anaakusaasaanyanga mu mawanga gonna, okutandikira ku ludda olumu olw’ensi gy’etandikira, okutuuka ku ludda olulala gy’ekoma. Eyo gy’onoosinzizanga bakatonda abalala abakolebwa mu miti ne mu mayinja, ggwe ne bajjajjaabo be mutamanyangako. 65 (B)Mu mawanga ago togenda kuweereraweererangayo wadde ebigere byo okufunirangayo ekiwummulo. Eyo, Mukama anaakuweerangayo omutima ogujugumira, n’amaaso agaagala okuziba olw’okujulirira, n’emmeeme eweddemu essuubi. 66 Onoobanga mu kubuusabuusa buli kaseera, ng’ojjudde okutya emisana n’ekiro, ng’obulamu bwo tobwekakasa. 67 (C)Mu makya onoogambanga nti, “Singa nno bubadde kiro!” Ate ekiro ng’ogamba nti, “Singa nno bubadde makya!” olw’okutya okunajjulanga mu mutima gwo, n’ebyo amaaso go bye ganaalabanga.

Read full chapter

19 (A)Laba, omuyaga gwa Mukama
    gujja kubwatuka n’ekiruyi,
empewo ey’akazimu
    eyetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi.

Read full chapter

Noolwekyo, obusungu bwange obungi ennyo kyebwava bubabuubuukira; ne buzinda ebibuga bya Yuda n’enguudo za Yerusaalemi era ne bifuuka amatongo, ne leero.

Read full chapter