Add parallel Print Page Options

12 (A)Buli asanyukira okukangavvulwa ayagala amagezi;
    naye oyo akyawa okunenyezebwa musirusiru.

Omuntu omulungi aganja mu maaso ga Mukama,
    naye Mukama asalira omusango omuntu ow’enkwe.

(B)Omuntu tanywezebwa lwa kukola bitali bya butuukirivu,
    naye omulandira gw’omutuukirivu tegulisigulwa.

(C)Omukyala ow’empisa ennungi ssanyu era ngule ya mwami we,
    naye omukazi eyeeyisa obubi ali nga kookolo mu magumba ga bba.

Enteekateeka z’omutuukirivu ziba za mazima,
    naye amagezi g’abakozi b’ebibi ge bawa gaba ga bulimba.

(D)Ebiteeso by’abakozi b’ebibi kuyiwa musaayi,
    naye ebigambo by’abatuukirivu bye bibawonya.

(E)Abakozi b’ebibi bagwa ne basaanirawo ddala,
    naye ennyumba y’omutuukirivu teesagaasaganenga emirembe gyonna.

Ebigambo by’omugezi bimuleetera okusiimibwa,
    naye eby’omusirusiru bimunyoomesa.

Omuntu eyeetoowaza ne yeekolera,
    asinga oyo eyeegulumiza n’abulwa ky’alya.

10 Omutuukirivu afaayo ku bisolo bye,
    naye omukozi w’ebibi abiraga bukambwe bwereere.

11 (F)Oyo eyeerimira aliba n’emmere nnyingi,
    naye oyo anoonya ebitaliimu talina magezi.

12 Abakozi b’ebibi baagala okubba omunyago gwa babbi bannaabwe,
    naye omulandira gw’abatuukirivu gunywera.

13 (G)Ebigambo by’omukozi w’ebibi bimusuula mu mitawaana,
    naye omutuukirivu awona akabi.

14 (H)Omuntu ajjuzibwa ebirungi okuva mu bibala bye bigambo by’akamwa ke,
    n’emirimu gy’emikono gye gimusasula bulungi.

15 (I)Ekkubo ly’omusirusiru ddungi mu kulaba kwe ye,
    naye omugezi assaayo omwoyo ku magezi agamuweebwa.

16 (J)Omusirusiru alaga mangu obusungu bwe,
    naye omutegeevu tassa mwoyo ku kivume.

17 (K)Omujulizi ow’amazima awa obujulizi obutuufu,
    naye omujulizi ow’obulimba ayogera bya bulimba.

18 (L)Ebigambo ebyanguyirize bisala ng’ekitala ekyogi,
    naye olulimi lw’omuntu omugezi luwonya.

19 Emimwa egyogera amazima gibeerera emirembe gyonna,
    naye olulimi olulimba lwa kiseera buseera.

20 Obulimba buli mu mitima gyabo abategeka okukola ebibi,
    naye essanyu liri n’abo abakolerera emirembe.

21 (M)Tewali kabi konna kagwa ku batuukirivu,
    naye abakozi b’ebibi tebaggwaako mitawaana.

22 (N)Mukama akyawa emimwa egirimba,
    naye asanyukira ab’amazima.

23 (O)Omuntu omutegeevu talaga nnyo by’amanyi,
    naye abasirusiru balaga obutamanya bwabwe.

24 (P)Omukono gw’omunyiikivu gulimufuula omufuzi,
    naye obugayaavu bufuula omuntu omuddu.

25 (Q)Omutima ogweraliikirira guleetera omuntu okwennyika,
    naye ekigambo eky’ekisa kimusanyusa.

26 Omutuukirivu yeegendereza mu mikwano gye,
    naye ekkubo ly’ababi libabuza.

27 Omuntu omugayaavu tayokya muyiggo gwe,
    naye omunyiikivu kyayizze, kiba kya muwendo gyali.

28 (R)Mu kkubo ery’obutuukirivu mulimu obulamu,
    era mu kkubo eryo temuli kufa.

12 Whoever loves discipline loves knowledge,
    but whoever hates correction is stupid.(A)

Good people obtain favor from the Lord,(B)
    but he condemns those who devise wicked schemes.(C)

No one can be established through wickedness,
    but the righteous cannot be uprooted.(D)

A wife of noble character(E) is her husband’s crown,
    but a disgraceful wife is like decay in his bones.(F)

The plans of the righteous are just,
    but the advice of the wicked is deceitful.

The words of the wicked lie in wait for blood,
    but the speech of the upright rescues them.(G)

The wicked are overthrown and are no more,(H)
    but the house of the righteous stands firm.(I)

A person is praised according to their prudence,
    and one with a warped(J) mind is despised.

Better to be a nobody and yet have a servant
    than pretend to be somebody and have no food.

10 The righteous care for the needs of their animals,(K)
    but the kindest acts of the wicked are cruel.

11 Those who work their land will have abundant food,
    but those who chase fantasies have no sense.(L)

12 The wicked desire the stronghold of evildoers,
    but the root of the righteous endures.

13 Evildoers are trapped by their sinful talk,(M)
    and so the innocent escape trouble.(N)

14 From the fruit of their lips people are filled with good things,(O)
    and the work of their hands brings them reward.(P)

15 The way of fools seems right to them,(Q)
    but the wise listen to advice.(R)

16 Fools(S) show their annoyance at once,(T)
    but the prudent overlook an insult.(U)

17 An honest witness tells the truth,
    but a false witness tells lies.(V)

18 The words of the reckless pierce like swords,(W)
    but the tongue of the wise brings healing.(X)

19 Truthful lips endure forever,
    but a lying tongue lasts only a moment.

20 Deceit is in the hearts of those who plot evil,
    but those who promote peace have joy.(Y)

21 No harm overtakes the righteous,(Z)
    but the wicked have their fill of trouble.

22 The Lord detests lying lips,(AA)
    but he delights(AB) in people who are trustworthy.(AC)

23 The prudent keep their knowledge to themselves,(AD)
    but a fool’s heart blurts out folly.(AE)

24 Diligent hands will rule,
    but laziness ends in forced labor.(AF)

25 Anxiety weighs down the heart,(AG)
    but a kind word cheers it up.

26 The righteous choose their friends carefully,
    but the way of the wicked leads them astray.(AH)

27 The lazy do not roast[a] any game,
    but the diligent feed on the riches of the hunt.

28 In the way of righteousness there is life;(AI)
    along that path is immortality.

Footnotes

  1. Proverbs 12:27 The meaning of the Hebrew for this word is uncertain.