Add parallel Print Page Options

(A)Kubanga Mukama awa amagezi;
    era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera.
(B)Mukama aterekera abatuukirivu amagezi amalungi,
    era aba ngabo y’abo abatambulira mu bugolokofu.
(C)Abatambuliza mu makubo ag’obwenkanya,
    era bw’atyo Mukama akuuma ekkubo ly’abatukuvu be.

Olwo lw’olitegeera obutuukirivu, amazima n’obwenkanya;
    weewaawo buli kkubo eddungi.
10 (D)Kubanga amagezi galiyingira mu mutima gwo,
    n’okumanya kulisanyusa omwoyo gwo.

Read full chapter