Add parallel Print Page Options

(A)Yigira ku biwuka, mugayaavu ggwe;
    fumiitiriza engeri gye bikolamu obiyigireko.
Tebirina mukulembeze,
    mukungu oba mufuzi yenna abikulembera,
(B)kyokka byekuŋŋaanyiza emmere mu biseera eby’amakungula,
    ne bitereka emmere mu biseera ebituufu mu mwaka.

(C)Olituusa ddi okwebaka mugayaavu ggwe?
    Oligolokoka ddi n’ova mu tulo two?
10 (D)Otulo otutonotono, n’okusumagira akatono,
    n’okufunya emikono okuwummulako,
11 (E)obwavu bulikutuukako ng’omutemu,
    era n’obwetaavu ng’omutemu.

Read full chapter

30 (A)Nayita ku nnimiro ey’omugayaavu,
    ne mpita ne ku nnimiro y’emizabbibu ey’oyo atalina kutegeera.
31 Kale laba, ng’ennimiro eyo ebunye amaggwa,
    wansi wonna nga wabikkiddwa omuddo,
    n’olukomera lwayo olw’amayinja nga lugudde.
32 Ne neekaliriza ne ntegeera
    ne nfuna ekyokuyiga mu bye nalaba.
33 (B)Otulo otutonotono, n’okusumagira akatono,
    n’okufunya emikono okuwummulako,
34 (C)obwavu bulikutuukako ng’omutemu,
    era n’obwetaavu ng’omutemu.

Read full chapter

13 (A)Omugayaavu ayogera nti, “Ebweru eriyo empologoma,”
    oba nti, “Nnyinza okutemulirwa mu kkubo.”

Read full chapter