Add parallel Print Page Options

(A)Yigira ku biwuka, mugayaavu ggwe;
    fumiitiriza engeri gye bikolamu obiyigireko.
Tebirina mukulembeze,
    mukungu oba mufuzi yenna abikulembera,
(B)kyokka byekuŋŋaanyiza emmere mu biseera eby’amakungula,
    ne bitereka emmere mu biseera ebituufu mu mwaka.

(C)Olituusa ddi okwebaka mugayaavu ggwe?
    Oligolokoka ddi n’ova mu tulo two?
10 (D)Otulo otutonotono, n’okusumagira akatono,
    n’okufunya emikono okuwummulako,
11 (E)obwavu bulikutuukako ng’omutemu,
    era n’obwetaavu ng’omutemu.

Read full chapter

13 (A)Omugayaavu agamba nti, “Mu kkubo eriyo empologoma,
    empologoma enkambwe eyita mu luguudo!”

14 (B)Ng’oluggi bwe lukyukira ku ppata zaalwo,
    bw’atyo omugayaavu bw’akyukira ku kitanda kye.

15 (C)Omugayaavu akoza n’engalo ze mu kibya,
    naye olw’obunafu bwe n’atasobola kuzizza mu kamwa.

16 Omugayaavu alowooza nti mugezi,
    okusinga abantu omusanvu abaddamu ebibuuzo mu butuufu.

Read full chapter