Add parallel Print Page Options

(A)Kabaka n’akomawo okuva mu nnimiro ey’omu lubiri n’ayingira mu kifo eky’embaga, n’asanga Kamani ng’agudde ku ntebe ey’olugalamiriro Eseza kwe yali.

Kabaka ne yeekanga nnyo era n’akangula eddoboozi ng’agamba nti, “N’okukwata ayagala kukwatira Nnabagereka mu maaso gange wano mu nnyumba?”

Kabaka bwe yali nga yakamala okwogera ekigambo ekyo, ne babikka ku maaso[a] ga Kamani.

Read full chapter

Footnotes

  1. 7:8 Okubikka ku maaso g’omuntu kyategeezanga nti omuntu oyo asaliddwa omusango gwa kufa.

41 (A)Watuula ku kitanda ekinene eky’ekitiibwa, n’oyalirira n’emmeeza mu maaso go ng’etegekeddwako obubaane bwange n’amafuta gange.

Read full chapter

12 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ng’omusumba bw’agezaako okutaasa endiga ye okuva mu kamwa k’empologoma
    n’asikayo amagulu abiri obubiri n’ekitundu ky’okutu,
    bwe batyo Abayisirayiri bwe balinunulibwa,
abo abatuula mu Samaliya
    ku nkomerero y’ebitanda byabwe
    ne ku bitanda byabwe mu Ddamasiko.

Read full chapter

(A)Mugalamira ku bitanda ebyakolebwa mu masanga
    ne muwummulira mu ntebe ennyonvu
nga muvaabira ennyama y’endiga
    n’ey’ennyana ensava.

Read full chapter