Add parallel Print Page Options

14 (A)Obuvumu bwo bulibeerera, oba emikono gyo giriba n’amaanyi olunaku lwe ndikubonereza? Nze Mukama nkyogedde, era ndikikola.

Read full chapter

17 (A)Kubanga olunaku olukulu olw’obusungu bwabwe lutuuse era ani ayinza okugumira obusungu bwabwe!”

Read full chapter

(A)Ekitundu kino eky’ekimu ekyokusatu ndikireeta mu muliro,
    ne mbalongoosa ng’effeeza bw’erongoosebwa
    mbagezese nga zaabu bw’egezesebwa.
Balikoowoola erinnya lyange
    nange ndibaanukula.
Ndigamba nti, ‘Bantu bange,’
    era nabo baliddamu nti, ‘Mukama ye Katonda waffe.’ ”

Read full chapter

10 (A)Kaakano embazzi ya Katonda eteekeddwa ku buli kikolo kya muti, omuti ogutabala bibala birungi, gutemebwa gusuulibwe mu muliro.

11 (B)“Nze mbabatiza na mazzi okutuuka ku kwenenya, naye waliwo omulala ajja, oyo ye ansinga amaanyi era sisaanira na kukwata ngatto ze, oyo alibabatiza ne Mwoyo Mutukuvu n’omuliro. 12 (C)Ekikuŋŋunta kiri mu mukono gwe, alirongoosa egguuliro lye. Eŋŋaano aligitereka mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya mu muliro ogutazikira.”

Read full chapter