Add parallel Print Page Options

(A)“Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw’okujja kwe, era ani aliyimirira ye bw’alirabika? Kubanga ali ng’omuliro gw’oyo alongoosa effeeza era nga sabbuuni ow’abayoza.

Read full chapter

10 (A)Laba nkugezesezza naye si nga ffeeza.
    Nkugezesezza mu kirombe ky’okubonaabona.

Read full chapter

(A)Ekyo, kijja kubasanyusa nnyo newaakubadde nga mujja kusanga ebizibu bya ngeri nnyingi okumala akaseera. (B)Kubanga okugezesebwa kw’okukkiriza kwammwe, kwa muwendo mungi nnyo okusinga zaabu egezebwa mu muliro n’ekakasibwa, kulyoke kusaanire ettendo n’ekitiibwa n’okugulumizibwa ku lunaku luli Mukama waffe Yesu Kristo lw’alirabikirako.

Read full chapter

15 (A)Bw’obanga mu buzibu,
    nnaakuwonyanga, naawe onongulumizanga.”

Read full chapter

(A)“Ndiwa ennyumba ya Yuda amaanyi
    era ndiwonya ennyumba ya Yusufu,
ndibakomyawo
    kubanga mbakwatiddwa ekisa.
Balibeera
    nga be sseegaanangako
era ndibawulira
    kubanga nze Mukama Katonda waabwe.

Read full chapter

22 ‘Noolwekyo munaabeeranga bantu bange,
    nange n’abeeranga Katonda wammwe.’ ”

Read full chapter

12 (A)“Awo mulimpita ne mujja ne munsaba, nange ne mbawulira,” bw’ayogera Mukama.

Read full chapter