Add parallel Print Page Options

(A)Mu mmwe mulimu abantu abawaayiriza abaamalirira okuyiwa omusaayi, era mulimu n’abo abaliira ku nsozi, ne bakola eby’obugwagwa.

Read full chapter

19 (A)Era weekuumenga nnyo bw’onooyimusanga amaaso go okutunula waggulu ku ggulu, n’olaba enjuba, n’omwezi n’emmunyeenye, n’ebitiibwa byabyo, n’osendebwasendebwa n’obiweereza, era n’obivuunamira n’obisinza; songa ebyo byonna bye bintu Mukama Katonda wo bye yawa amawanga gonna agali wansi w’eggulu.

Read full chapter

13 (A)Mulitegeera nga nze Mukama, abantu baabwe bwe balisangibwa nga bafiiridde wakati mu bakatonda baabwe be baakola n’emikono okwetooloola ebyoto byabwe, ne ku buli lusozi oluwanvu, ne ku buli ntikko ez’ensozi, ne buli wansi w’omuti oguliko ebikoola, n’omwera oguliko ebikoola, ebifo gye baali nga bootereza obubaane eri bakatonda baabwe be baakola n’emikono.

Read full chapter

24 (A)kubanga tebaagoberera mateeka gange era ne bajeemera n’ebiragiro byange, era ne batatukuza Ssabbiiti zange, naye amaaso gaabwe ne gayaayaanira bakatonda abalala aba bajjajjaabwe.

Read full chapter