Add parallel Print Page Options

Obunnabbi eri Misiri

29 (A)Awo mu mwaka ogw’ekkumi, mu mwezi ogw’ekkumi ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, (B)“Omwana w’omuntu, tunula eri Falaawo, ye kabaka w’e Misiri olangirire obunnabbi gy’ali n’eri Misiri yonna. (C)Yogera gy’ali nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Nkulinako ensonga, Falaawo, ggwe kabaka w’e Misiri,
    ggwe ogusota ogunene ogugalamidde wakati mu migga gyagwo,
ogwogera nti, “Kiyira wange,
    era nze nnamwekolera.”
(D)Nditeeka amalobo mu mba zo,
    era ndireetera n’ebyennyanja eby’omu migga gyo okukwatira ku magamba go.
Ndikusikayo mu migga gyo
    ng’ebyennyanja byonna bikwatidde ku magamba go.
(E)Ndikutwala mu ddungu,
    ggwe n’ebyennyanja byonna eby’omu migga gyo.
Oligwa ku ttale,
    so tolikuŋŋaanyizibwa newaakubadde okulondebwalondebwa.
Ndikuwaayo okuba emmere
    eri ensolo enkambwe ez’oku nsi n’eri ebinyonyi eby’omu bbanga.

(F)Awo bonna ababeera mu Misiri balimanya nga nze Mukama Katonda.

“ ‘Obadde muggo gwa lumuli eri ennyumba ya Isirayiri. (G)Bwe bakunyweza n’emikono gyabwe, n’omenyekamenyeka, n’oyuza ebibegabega byabwe; bwe baakwesigamako, n’omenyeka, era n’okutula n’emigongo gyabwe.

(H)“ ‘Mukama Katonda kyava ayogera nti: Ndikujjira n’ekitala, n’enzita abantu bo n’ebisolo byabwe. (I)Ensi ey’e Misiri erifuuka matongo era ensiko, balyoke bamanye nga nze Mukama Katonda.

“ ‘Kubanga wayogera nti, “Kiyira wange, nze namukola,” 10 (J)kyennaava mbeera n’ensonga eri ggwe n’eri emigga gyo, era ndifuula ensi ey’e Misiri okuba ensiko enjereere ejjudde amatongo okuva ku mulongooti ogw’e Sevene okutuuka ku nsalo ey’e Buwesiyopya. 11 (K)Tewaliba kigere kya muntu newaakubadde ky’ensolo ekiri giyitamu, so teribeerwamu okumala emyaka amakumi ana. 12 (L)Ndifuula ensi ey’e Misiri okuba amatongo wakati mu nsi ezaazika, era n’ebibuga byakyo biriba byereere okumala emyaka amakumi ana. Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbataataanyiza mu nsi nnyingi.

13 “ ‘Naye Mukama Katonda agamba nti; Oluvannyuma lw’emyaka amakumi ana ndikuŋŋaanya Abamisiri okuva mu mawanga gye baasaasaanira, 14 (M)era ndibakomyawo okuva mu busibe ne mbazza mu nsi ey’e Pasulo, ensi eya bajjajjaabwe, era eyo baliba bwakabaka obwajeezebwa. 15 (N)Bulisinga obwakaba bwonna okujeezebwa, so tebulyegulumiza nate okusinga amawanga amalala. Ndiginafuyiza ddala, era tebalifuga nate amawanga. 16 (O)Misiri talyesigibwa nate abantu ba Isirayiri, naye eriba kijjukizo eky’ekibi kubanga baabakyukira nga banoonya okuyambibwa. Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda.’ ”

17 (P)Awo mu mwaka ogw’amakumi abiri mu omusanvu, mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olusooka mu mwezi, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 18 (Q)“Omwana w’omuntu, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni yaweereza eggye lye ne lirumba Ttuulo, buli mutwe ne gufuna ekiwalaata ne buli kibegabega ne kimenyebwa, naye ye n’eggye lye ne bataweebwa mpeera olw’okulumba Ttuulo. 19 (R)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni ndimuwa Misiri ne yeetikka obugagga bwe, n’abanyagira ddala era y’eriba empeera ey’eggye lye. 20 (S)Mmuwadde ensi ey’e Misiri okuba empeera ye gye yafubirira kubanga ye n’eggye lye bankolera omulimu, bw’ayogera Mukama Katonda.

21 (T)“Ku lunaku olwo ndiyimusa ejjembe[a] ery’amaanyi mu nnyumba ya Isirayiri, era ndiyasamya akamwa ko mu bo. Olwo balimanya nga nze Mukama.”

Footnotes

  1. 29:21 Ejjembe wano kitegeeza amaanyi

A Prophecy Against Egypt

Judgment on Pharaoh

29 In the tenth year, in the tenth month on the twelfth day, the word of the Lord came to me:(A) “Son of man, set your face against(B) Pharaoh king of Egypt(C) and prophesy against him and against all Egypt.(D) Speak to him and say: ‘This is what the Sovereign Lord says:

“‘I am against you, Pharaoh(E) king of Egypt,
    you great monster(F) lying among your streams.
You say, “The Nile(G) belongs to me;
    I made it for myself.”
But I will put hooks(H) in your jaws
    and make the fish of your streams stick to your scales.
I will pull you out from among your streams,
    with all the fish sticking to your scales.(I)
I will leave you in the desert,
    you and all the fish of your streams.
You will fall on the open field
    and not be gathered(J) or picked up.
I will give you as food
    to the beasts of the earth and the birds of the sky.(K)

Then all who live in Egypt will know that I am the Lord.

“‘You have been a staff of reed(L) for the people of Israel. When they grasped you with their hands, you splintered(M) and you tore open their shoulders; when they leaned on you, you broke and their backs were wrenched.[a](N)

“‘Therefore this is what the Sovereign Lord says: I will bring a sword against you and kill both man and beast.(O) Egypt will become a desolate wasteland. Then they will know that I am the Lord.

“‘Because you said, “The Nile(P) is mine; I made it,(Q) 10 therefore I am against you(R) and against your streams, and I will make the land of Egypt(S) a ruin and a desolate waste(T) from Migdol(U) to Aswan,(V) as far as the border of Cush.[b](W) 11 The foot of neither man nor beast will pass through it; no one will live there for forty years.(X) 12 I will make the land of Egypt desolate(Y) among devastated lands, and her cities will lie desolate forty years among ruined cities. And I will disperse the Egyptians among the nations and scatter them through the countries.(Z)

13 “‘Yet this is what the Sovereign Lord says: At the end of forty years I will gather the Egyptians from the nations where they were scattered. 14 I will bring them back from captivity and return them to Upper Egypt,(AA) the land of their ancestry. There they will be a lowly(AB) kingdom.(AC) 15 It will be the lowliest of kingdoms and will never again exalt itself above the other nations.(AD) I will make it so weak that it will never again rule over the nations. 16 Egypt will no longer be a source of confidence(AE) for the people of Israel but will be a reminder(AF) of their sin in turning to her for help.(AG) Then they will know that I am the Sovereign Lord.(AH)’”

Nebuchadnezzar’s Reward

17 In the twenty-seventh year, in the first month on the first day, the word of the Lord came to me:(AI) 18 “Son of man, Nebuchadnezzar(AJ) king of Babylon drove his army in a hard campaign against Tyre; every head was rubbed bare(AK) and every shoulder made raw.(AL) Yet he and his army got no reward from the campaign he led against Tyre. 19 Therefore this is what the Sovereign Lord says: I am going to give Egypt to Nebuchadnezzar king(AM) of Babylon, and he will carry off its wealth. He will loot and plunder(AN) the land as pay for his army.(AO) 20 I have given him Egypt(AP) as a reward for his efforts because he and his army did it for me, declares the Sovereign Lord.(AQ)

21 “On that day I will make a horn[c](AR) grow for the Israelites, and I will open your mouth(AS) among them. Then they will know that I am the Lord.(AT)

Footnotes

  1. Ezekiel 29:7 Syriac (see also Septuagint and Vulgate); Hebrew and you caused their backs to stand
  2. Ezekiel 29:10 That is, the upper Nile region
  3. Ezekiel 29:21 Horn here symbolizes strength.