Add parallel Print Page Options

(A)Mmutuma okulumba eggwanga eritatya Mukama,
    era mmusindika eri abantu abansunguwazizza,
abanyage, ababbire ddala,
    n’okubasambirira abasambirire ng’ebitoomi eby’omu nguudo.
(B)Naye kino si kye kigendererwa kye,
    kino si ky’alowooza.
Ekigendererwa kye kwe kuzikiriza,
    okumalirawo ddala amawanga mangi.

Read full chapter

45 (A)“Bw’ati Mukama bw’agamba Kuulo gwe yafukako amafuta,
    oyo gwe mpadde amaanyi mu mukono gwe ogwa ddyo
okujeemulula amawanga mu maaso ge
    era n’okwambula bakabaka ebyokulwanyisa byabwe,
okuggulawo enzigi ezimuli mu maaso,
    emiryango eminene gireme kuggalwawo.

Read full chapter

(A)nzija kukoowoola abantu bonna ab’omu bukiikakkono n’omuddu wange Nebukadduneeza, balumbe ensi eno n’abantu baamu era n’ensi zonna ezibeetoolodde. Nzija kuzizikiririza ddala nzifuule ekintu eky’entiisa era eky’okusekererwa, era zoonoonekere ddala.

Read full chapter