Add parallel Print Page Options

20 (A)n’ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ennyonyi ez’omu bbanga, n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko, ne buli kyewalulira ku ttaka, n’abantu bonna abali ku nsi balikankana olw’okujja kwange. Ensozi zirisuulibwa n’ebbanga liribulunguka, ne buli bbugwe aligwa ku ttaka.

Read full chapter

(A)Lwaki bwe najja tewaali muntu n’omu?
    Bwe nakoowoola lwaki tewaali muntu n’omu annyanukula?
Omukono gwange gwali mumpi nnyo okukununula?
    Mbuliddwa amaanyi agakununula?
Laba nnyinza okwogera obwogezi ennyanja n’ekalira,
    emigga ne ngifuula eddungu,
ebyennyanja byamu ne bifa ennyonta,
    ne bivunda olw’okubulwa amazzi.

Read full chapter

(A)Akangavvula ennyanja n’agikaza
    era akaza emigga gyonna,
ennimiro ez’omu Basani zikala, olusozi Kalumeeri lwonna lukayuse,
    n’ebimuli bya Lebanooni biwotose.
(B)Ensozi zikankanira mu maaso ga Katonda,
    obusozi ne busaanuuka,
ettaka ne lyatikayatika mu maaso ge,
    ensi n’ekankana n’abantu bonna abagirimu.
(C)Ani ayinza okuyimirira mu maaso ge ng’asunguwadde?
    Ani ayinza okugumira obusungu bwe obw’amaanyi?
Ekiruyi kye kibuubuuka ng’omuliro,
    n’enjazi n’eziyatikayatika.

Read full chapter