Add parallel Print Page Options

10 (A)Nga zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya,
    n’abo abawa ebiragiro ebinyigiriza,
(B)okulemesa abaavu ne batafuna nsala ebagwanidde;
    era n’okunyaga ku bantu bange abaavu ebyabwe,
ne bafuula bannamwandu omunyago gwabwe,
    n’abatalina ba kitaabwe omuyiggo gwabwe!
(C)Mulikola mutya ku lunaku Mukama lwalisalirako omusango
    ne mu kuzikirira okuliva ewala?
Muliddukira w’ani alibayamba?
    Obugagga bwammwe mulibuleka wa?
(D)Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibe
    oba okuba mu abo abattiddwa.

Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwe buliba tebunnaggwaawo,
    era n’omukono gwe guliba gukyagoloddwa.

Omusango Katonda gwalisalira Bwasuli

(E)“Zikusanze Bwasuli, omuggo gw’obusungu bwange,
    era omuggo gw’ekiruyi kyange.
(F)Mmutuma okulumba eggwanga eritatya Mukama,
    era mmusindika eri abantu abansunguwazizza,
abanyage, ababbire ddala,
    n’okubasambirira abasambirire ng’ebitoomi eby’omu nguudo.
(G)Naye kino si kye kigendererwa kye,
    kino si ky’alowooza.
Ekigendererwa kye kwe kuzikiriza,
    okumalirawo ddala amawanga mangi.
(H)‘Abaduumizi bange bonna tebenkana bakabaka?’ bw’atyo bw’ayogera.
    (I)‘Kalino tetwakizikiriza nga Kalukemisi,
ne Kamasi nga Alupaadi,
    ne Samaliya nga Ddamasiko?
10 (J)Ng’omukono gwange bwe gwawamba obwakabaka obusinza bakatonda ababajje,
    abasinga n’abo ab’omu Yerusaalemi ne Samaliya,
11 nga bwe nakola Samaliya ne bakatonda baabwe abalala
    si bwe nnaakola Yerusaalemi ne bakatonda baabwe ababajje?’ ”

12 (K)Mukama bw’alimaliriza omulimu gwe ku lusozi Sayuuni era ne ku Yerusaalemi n’alyoka abonereza kabaka w’e Bwasuli olw’okwewaana n’okuduula kwe n’entunula ye ey’amalala. 13 (L)Kubanga yayogera nti,

“ ‘Bino byonna mbikoze olw’amaanyi g’omukono gwange,
    era n’olw’amagezi gange,
kubanga ndi mukalabakalaba:
    Najjulula ensalo z’amawanga ne nnyaga obugagga bwabwe,
    ng’ow’amaanyi omuzira ne nzikakkanya bakabaka baabwe.
14 (M)Ng’omuntu bw’akwata mu kisu,
    omukono gwange gw’akunuukiriza ne gukwata mu bugagga bw’amawanga;
ng’abantu bwe balondalonda amagi agalekeddwawo,
    bwe ntyo bwe nakuŋŋaanya amawanga gonna,
tewali na limu lyayanjuluza ku kiwaawaatiro,
    newaakubadde eryayasamya akamwa kaalyo okukaaba.’ ”

15 (N)Embazzi eyinza okweyita ey’ekitalo okusinga oyo agitemesa?
    Omusumeeno gulyekuza okusinga oyo agusazisa?
Gy’obeera nti oluga luyinza okuwuuba omuntu alukozesa,
    oba omuggo okusitula oyo atali muti.
16 (O)Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda Ayinzabyonna,
    kyaliva aweereza obukovvu bulye abasajja be abaagejja,
era wansi w’okujaganya n’ekitiibwa kye akoleeze wo omuliro
    ogwokya ng’oluyiira.
17 (P)Ekitangaala kya Isirayiri kirifuuka omuliro,
    n’Omutukuvu waabwe abeere olulimi lw’omuliro,
mu lunaku lumu kyokye kimalirewo ddala
    amaggwa ge n’emyeramannyo gye.
18 (Q)Era kiryokya ne kimalirawo ddala ekitiibwa ky’ebibira bye,
    n’ennimiro ze, engimu,
    ng’omusajja omulwadde bwaggweerawo ddala.
19 (R)N’emiti egy’omu kibira kye egirisigalawo giriba mitono nnyo
    nga n’omwana ayinza okugibala.

Abalisigalawo ku Isirayiri

20 (S)Awo olulituuka ku lunaku olwo, abaliba bafisseewo ku Isirayiri,
    n’abo abaliba bawonye ku nnyumba ya Yakobo
nga tebakyeyinulira ku oyo[a]
    eyabakuba
naye nga beesigama ku Mukama Katonda,
    omutukuvu wa Isirayiri mu mazima.
21 (T)Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekitundu kya Yakobo
    kirikomawo eri Katonda ow’amaanyi.
22 (U)Kubanga wadde abantu bo bangi ng’omusenyu gw’ennyanja,
    abalikomawo nga balamu baliba batono.
Okuzikirira kwo kwa kubaawo
    kubanga kusaanidde.
23 (V)Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alireeta
    enkomerero eteriiko kubuusabuusa nga bwe yateekateeka entuuko mu nsi yonna.

24 (W)Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye kyava ayogera nti,

“Mmwe abantu bange ababeera mu Sayuuni,
    temutyanga Abasuli,
newaakubadde nga babakuba n’oluga
    era nga babagololera omuggo nga Abamisiri bwe baakola.
25 (X)Kubanga mu kaseera katono nnyo
    obusungu bwange gy’oli bujja kukoma era ekiruyi kyange kiribazikiriza.”

26 (Y)Mukama Katonda ow’Eggye alibakuba n’akaswanyu
    nga bwe yakuba aba Midiyaani ku lwazi lw’e Olebu.
Era aligololera oluga lwe ku nnyanja
    nga bwe yakola e Misiri.
27 (Z)Ku lunaku olwo, omugugu gwe guliggyibwa ku bibegabega byo,
    n’ekikoligo kye kive ku nsingo yo;
ekikoligo kirimenyebwa
    olw’obugevvu bwo.

28 (AA)Laba eggye ly’omulabe lituuse liwambye Yagasi,
    liyise mu Migulooni,
    era mu Mikumasi gye balireka emigugu gyabwe.
29 (AB)Bayise awavvuunukirwa, e Geba
    ne basulayo ekiro kimu,
Laama akankana,
    Gibea wa Sawulo adduse.
30 (AC)Kaaba n’eddoboozi ery’omwanguka ggwe omuwala wa Galimu!
    Ggwe Layisa wuliriza!
    Ng’olabye Anasosi!
31 Madumena adduse,
    abantu b’e Gebimu beekukumye.
32 (AD)Olwa leero bajja kusibira Nobu,
    balyolekeza ekikonde kyabwe
eri olusozi lwa Muwala wa Sayuuni,
    akasozi ka Yerusaalemi.

33 (AE)Laba, Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
    alitema amatabi n’entiisa
n’emiti emiwanvu n’emiwagguufu giritemerwa ddala,
    n’emiti emiwanvu girikkakkanyizibwa.
34 Era alitemera ddala n’embazzi ebisaka by’omu kibira;
    Lebanooni aligwa mu maaso g’oyo Ayinzabyonna.

Footnotes

  1. 10:20 Kino kyogera ku bantu ba Bwasuli

10 Woe(A) to those who make unjust laws,
    to those who issue oppressive decrees,(B)
to deprive(C) the poor of their rights
    and withhold justice from the oppressed of my people,(D)
making widows their prey
    and robbing the fatherless.(E)
What will you do on the day of reckoning,(F)
    when disaster(G) comes from afar?
To whom will you run for help?(H)
    Where will you leave your riches?
Nothing will remain but to cringe among the captives(I)
    or fall among the slain.(J)

Yet for all this, his anger is not turned away,(K)
    his hand is still upraised.

God’s Judgment on Assyria

“Woe(L) to the Assyrian,(M) the rod(N) of my anger,
    in whose hand is the club(O) of my wrath!(P)
I send him against a godless(Q) nation,
    I dispatch(R) him against a people who anger me,(S)
to seize loot and snatch plunder,(T)
    and to trample(U) them down like mud in the streets.
But this is not what he intends,(V)
    this is not what he has in mind;
his purpose is to destroy,
    to put an end to many nations.
‘Are not my commanders(W) all kings?’ he says.
    ‘Has not Kalno(X) fared like Carchemish?(Y)
Is not Hamath(Z) like Arpad,(AA)
    and Samaria(AB) like Damascus?(AC)
10 As my hand seized the kingdoms of the idols,(AD)
    kingdoms whose images excelled those of Jerusalem and Samaria—
11 shall I not deal with Jerusalem and her images
    as I dealt with Samaria and her idols?(AE)’”

12 When the Lord has finished all his work(AF) against Mount Zion(AG) and Jerusalem, he will say, “I will punish the king of Assyria(AH) for the willful pride(AI) of his heart and the haughty look(AJ) in his eyes. 13 For he says:

“‘By the strength of my hand(AK) I have done this,(AL)
    and by my wisdom, because I have understanding.
I removed the boundaries of nations,
    I plundered their treasures;(AM)
    like a mighty one I subdued[a] their kings.(AN)
14 As one reaches into a nest,(AO)
    so my hand reached for the wealth(AP) of the nations;
as people gather abandoned eggs,
    so I gathered all the countries;(AQ)
not one flapped a wing,
    or opened its mouth to chirp.(AR)’”

15 Does the ax raise itself above the person who swings it,
    or the saw boast against the one who uses it?(AS)
As if a rod were to wield the person who lifts it up,
    or a club(AT) brandish the one who is not wood!
16 Therefore, the Lord, the Lord Almighty,
    will send a wasting disease(AU) upon his sturdy warriors;(AV)
under his pomp(AW) a fire(AX) will be kindled
    like a blazing flame.
17 The Light of Israel will become a fire,(AY)
    their Holy One(AZ) a flame;
in a single day it will burn and consume
    his thorns(BA) and his briers.(BB)
18 The splendor of his forests(BC) and fertile fields
    it will completely destroy,(BD)
    as when a sick person wastes away.
19 And the remaining trees of his forests(BE) will be so few(BF)
    that a child could write them down.

The Remnant of Israel

20 In that day(BG) the remnant of Israel,
    the survivors(BH) of Jacob,
will no longer rely(BI) on him
    who struck them down(BJ)
but will truly rely(BK) on the Lord,
    the Holy One of Israel.(BL)
21 A remnant(BM) will return,[b](BN) a remnant of Jacob
    will return to the Mighty God.(BO)
22 Though your people be like the sand(BP) by the sea, Israel,
    only a remnant will return.(BQ)
Destruction has been decreed,(BR)
    overwhelming and righteous.
23 The Lord, the Lord Almighty, will carry out
    the destruction decreed(BS) upon the whole land.(BT)

24 Therefore this is what the Lord, the Lord Almighty, says:

“My people who live in Zion,(BU)
    do not be afraid(BV) of the Assyrians,
who beat(BW) you with a rod(BX)
    and lift up a club against you, as Egypt did.
25 Very soon(BY) my anger against you will end
    and my wrath(BZ) will be directed to their destruction.(CA)

26 The Lord Almighty will lash(CB) them with a whip,
    as when he struck down Midian(CC) at the rock of Oreb;
and he will raise his staff(CD) over the waters,(CE)
    as he did in Egypt.
27 In that day(CF) their burden(CG) will be lifted from your shoulders,
    their yoke(CH) from your neck;(CI)
the yoke(CJ) will be broken
    because you have grown so fat.[c]

28 They enter Aiath;
    they pass through Migron;(CK)
    they store supplies(CL) at Mikmash.(CM)
29 They go over the pass, and say,
    “We will camp overnight at Geba.(CN)
Ramah(CO) trembles;
    Gibeah(CP) of Saul flees.(CQ)
30 Cry out, Daughter Gallim!(CR)
    Listen, Laishah!
    Poor Anathoth!(CS)
31 Madmenah is in flight;
    the people of Gebim take cover.
32 This day they will halt at Nob;(CT)
    they will shake their fist(CU)
at the mount of Daughter Zion,(CV)
    at the hill of Jerusalem.

33 See, the Lord, the Lord Almighty,
    will lop off(CW) the boughs with great power.
The lofty trees will be felled,(CX)
    the tall(CY) ones will be brought low.(CZ)
34 He will cut down(DA) the forest thickets with an ax;
    Lebanon(DB) will fall before the Mighty One.(DC)

Footnotes

  1. Isaiah 10:13 Or treasures; / I subdued the mighty,
  2. Isaiah 10:21 Hebrew shear-jashub (see 7:3 and note); also in verse 22
  3. Isaiah 10:27 Hebrew; Septuagint broken / from your shoulders