Add parallel Print Page Options

Obunnabbi Obukwata ku Bufirisuuti

28 (A)Mu mwaka kabaka Akazi mwe yafiira ne wabaawo obubaka buno.

29 (B)Tosanyuka ggwe Bufirisuuti yonna,
    kubanga omuggo ogwakukuba gumenyese,
ne ku kikolo ky’omusota kulivaako enswera,
    n’ezzadde lyalyo liriba musota ogw’obusagwa oguwalabuka.
30 (C)Abasingirayo ddala okuba abaavu balifuna ekyokulya,
    n’abali mu kwetaaga balifuna ku tulo
naye ekikolo kyo ndikittisa enjala
    ate abo abalisigalawo mbattise ekitala.

31 (D)Leekaana ggwe wankaaki, kaaba ggwe ekibuga,
    osaanuuke olw’entiisa ggwe Bufirisuuti yonna!
Kubanga mu bukiikakkono muvaamu omukka,
    eggye ery’abalwanyi omutali munafu.
32 (E)Kale kiki kye banaddamu
    ababaka b’eggwanga eryo?
Mukama yassaawo Sayuuni,
    ne mu kyo abantu be ababonyaabonyezebwa mwe balifuna obuddukiro.”

Read full chapter

20 (A)Yekolaamu yali wa myaka amakumi asatu mu ebiri bwe yatandika okuba kabaka, era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka munaana. Okufa kwe tekwaleetera muntu n’omu kwejjusa, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi naye si ku biggya bya bassekabaka.

Read full chapter

25 (A)Awo Abasuuli bwe baavaayo, ne baleka nga Yowaasi alumizibbwa nnyo, era abaddu be ne bamusalira olukwe, olw’omusaayi gw’abaana ba Yekoyaada kabona, gwe yayiwa, ne bamuttira mu kitanda kye. Bwe yafa, n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi, naye si mu masiro ga bassekabaka.

Read full chapter