Add parallel Print Page Options

Obunnabbi Obukwata ku Mowaabu

15 (A)Mu kiro kimu kyokka Ali ekya Mowaabu kirizikirizibwa
    ne kimalibwawo.
Kiiri[a] ekya Mowaabu nakyo
    ne kizikirizibwa mu kiro!
(B)Abantu b’e Diboni bambuse ku lusozi
    okukaabira mu ssabo lyabwe.
    Abantu ba Mowaabu bakaaba bakungubagira ebibuga byabwe ebya Nebo ne Medeba.
Buli mutwe gwonna gumwereddwako enviiri
    na buli kirevu kyonna kimwereddwa.
(C)Beesibye ebibukutu mu nguudo;
    ku nnyumba waggulu era ne mu bibangirize ebinene eby’omu bibuga bakaaba.
Buli muntu atema emiranga
    n’abikaabira amaziga amayitirivu.
(D)Kesuboni ne Ereyale bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka,
    n’amaloboozi gaabwe gawulikika e Yakazi.
Abasajja ba Mowaabu abalina ebyokulwanyisa kyebava bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka,
    emmeeme ekankanira munda mu Mowaabu.

(E)Omutima gwange gukaabira Mowaabu;
    abantu be babundabunda, baddukira e Zowaali
    ne Yegulasuserisiya.
Bambuka e Lakisi
    nga bwe bakaaba;
bakaabira mu kkubo ery’e Kolonayimu
    nga boogera ku kuzikirizibwa kwabwe.
(F)Amazzi g’e Nimulimu gakalidde,
    omuddo guwotose,
omuddo omugonvu, guggwaawo,
    tewali kintu kimera.
(G)Abantu basomoka akagga ak’enzingu
    nga badduka n’ebintu byabwe bye baafuna ne babitereka.
Okukaaba kwetooloodde ensalo za Mowaabu;
    amaloboozi gatuuse e Yegalayimu,
    n’ebiwoobe ne bituuka e Beererimu.
(H)Amazzi g’e Diboni gajjudde omusaayi,
    naye ndyongera okuleeta ebirala ku Diboni;
empologoma egwe ku abo abalisigalawo mu Mowaabu,
    ne ku abo abalisigalawo ku nsi.
16 (I)“Muweereze abaana b’endiga
    eri oyo afuga ensi,
okuva e Seera, ng’oyita mu ddungu,
    okutuuka ku lusozi lwa Muwala wa Sayuuni.
(J)Ng’ennyonyi ezabulwako ekisu
    n’ezisaasaana nga zidda eno n’eri,
bwe batyo bwe baliba abawala ba Mowaabu
    awasomokerwa Alunooni.[b]

(K)“Tuwe ku magezi,
    tubuulire, tukole tutya?
Mutusiikirize mubeere ng’ekittuluze
    wakati mu ttuntu,
Abajja bagobebwa mubakweke,
    abajja badaaga temubalyamu lukwe.
(L)Muleke aba Mowaabu abajja bagobebwa babeere nammwe.
    Mubataakirize oyo ayagala okubamalawo.”

Omujoozi bw’aweddewo,
    n’okubetentebwa ne kuggwaawo;
    omulumbaganyi aliggwaawo mu nsi.
(M)Entebe ey’obwakabaka eryoke etekebwewo mu kwagala,
    era ku yo kutuuleko omufuzi ow’omu nnyumba ya Dawudi
    alamula mu bwesigwa
era anoonya obwenkanya
    era ayanguwa okukola eby’obutuukirivu.

(N)Tuwulidde amalala ga Mowaabu,
    nga bw’ajjudde okwemanya,
n’amalala ge n’okuvuma;
    naye okwemanya kwe tekugasa.
(O)Noolwekyo leka Mowaabu akaabe,
    leka buli muntu akaabire ku Mowaabu.
Mukungubage,
    musaalirwe obugaati bw’emizabbibu egy’e Kirukalesesi.
Ennimiro ez’e Kesuboni zikaze,
    n’emizabbibu gy’e Sibuma giweddewo.
Abafuzi b’amawanga batemeddewo ddala
    emiti gyabwe egyasinganga obulungi,
egyabunanga ne gituuka e Yazeri
    nga giggukira mu ddungu
n’emitunsi nga gibuna
    nga gituukira ddala mu nnyanja.
(P)Noolwekyo kyenva nkaaba amaziga nga Yazeri bw’akaaba
    olw’omuzabbibu ogw’e Sibuma.
Nakufukirira nkutobye n’amaziga gange,
    ggwe Kesuboni ne Ereyale:
kubanga essanyu ery’ebibala byo
    n’ebyokukungula byo lizikiziddwa.
10 (Q)Ennimiro engimu ziweddemu essanyu n’okweyagala;
    ne mu nnimiro z’emizabbibu temuliba ayimba wadde aleekaana;
mu masogolero temulibaamu musogozi asogoleramu nvinnyo;
    okuleekaana kw’omusogozi ng’asogola kukomye.
11 (R)Omutima gwange kyeguva gukaabira Mowaabu mu ddoboozi ng’ery’ennanga,
    emmeeme yange munda n’ekaabira Kirukeresi.
12 (S)Awo Mowaabu bw’alyeyanjula, mu bifo ebigulumivu,
    alyekooya yekka;
bw’aligenda okusamira,
    tekirimuyamba.

13 Ekyo kye kigambo Mukama kye yayogera ku Mowaabu mu biro eby’edda. 14 (T)Naye kaakano Mukama Katonda agamba nti, “Mu myaka esatu, ng’omukozi gwe bapangisizza bwe yandigibaze, ekitiibwa kya Mowaabu kijja kuba nga kifuuse ekivume ekinyoomebwa, newaakubadde ng’alina ekibiina ekinene; era walisigalawo abantu batono ate nga banafu ddala.”

Footnotes

  1. 15:1 Ali ne Kiiri bye bibuga ebikulu eby’Abamowaabu.
  2. 16:2 Alunooni mugga mukulu mu Mowaabu; guli nsalo ey’obukiikakkono

Obubaka Obukwata ku Mowaabu

48 (A)Ebikwata ku Mowaabu:

Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,

“Zikisanze Nebo, kubanga kijja kuzikirizibwa,
    Kiriyasayimu kiswale kiwambibwe,
    ekigo eky’amaanyi kijja kuswala kimenyebwe.
(B)Mowaabu taddeyo kutenderezebwa;
    mu Kesuboni abantu balitegeka okugwa kwe, nga boogera nti,
    ‘Mujje, tumalewo ensi eyo.’
Nammwe, mmwe Madumeni mulisirisibwa,
    n’ekitala kirikugoberera.
(C)Muwulirize emiranga egiva e Kolonayimu,
    okwonoonekerwa n’okuzikirizibwa okunene.
Mowaabu alimenyebwa;
    abawere ne bakaaba.
(D)Bakwata ekkubo erigenda e Lukisi,
    nga bwe bakungubaga
ku luguudo olugenda e Kolonayimu,
    emiranga egy’okuzikirizibwa giwulirwa.
(E)Mudduke! Muwonye obulamu bwammwe;
    mubeere ng’ebisaka mu ddungu.
(F)Kubanga mwesiga ebikolwa byammwe n’obugagga bwammwe,
    nammwe mulitwalibwa ng’abaddu,
ne Kemosi alitwalibwa mu buwaŋŋanguse
    awamu ne bakabona be n’abakungu be.
Omuzikiriza alirumba buli kibuga,
    era tewali kibuga kiriwona.
Ekiwonvu kiryonoonebwa
    n’olusenyu luzikirizibwe
    kubanga Mukama ayogedde.
Muwe Mowaabu ebiwaawaatiro abuuke agende
    kubanga alifuuka matongo,
ebibuga bye birizikirizibwa,
    nga tewali abibeeramu.

10 (G)“Akolimirwe oyo agayaalira omulimu gwa Mukama Katonda.
    Akolimirwe oyo aziyiza ekitala kye okuyiwa omusaayi.

11 (H)“Mowaabu abadde mirembe okuva mu buvubuka bwe,
    nga wayini gwe batasengezze,
gwe bataggye mu kibya ekimu okumuyiwa mu kirala,
    tagenzeko mu buwaŋŋanguse.
Kale awooma ng’edda,
    n’akawoowo ke tekakyukanga.
12 Naye ennaku zijja,”
    bw’ayogera Mukama Katonda,
“lwe ndituma basajja bange abaggya wayini mu bibya,
    era balimuyiwa ebweru;
balittulula ensuwa ze
    baase n’ebibya bye.
13 (I)Awo Mowaabu alikwatibwa ensonyi olwa Kemosi,
    ng’ennyumba ya Isirayiri bwe yaswala
    bwe yeesiga Beseri.

14 (J)“Oyinza otya okugamba nti, ‘Tuli balwanyi,
    abasajja abazira mu ntalo?’
15 (K)Mowaabu alizindibwa n’ebibuga bye ne bizikirizibwa;
    abavubuka be abato bagende battibwe,”
    bw’ayogera Kabaka, erinnya lye ye Mukama Katonda ow’Eggye.
16 (L)“Okugwa kwa Mowaabu kusembedde;
    akabi katuuse.
17 Mumubeesebeese mwenna abamwetoolodde,
    mwenna abamanyi ettutumu lye;
mugambe nti, ‘Ng’Omuggo ogw’amaanyi ogw’obwakabaka gumenyese,
    ng’oluga olw’ekitiibwa lumenyese!’ 

18 (M)“Mukke muve mu kitiibwa kyammwe
    mutuule ku ttaka,
    mmwe abatuuze b’Omuwala w’e Diboni,
kubanga oyo azikiriza Mowaabu
    alibajjira azikirize ebibuga byammwe ebya bbugwe.
19 (N)Muyimirire ku luguudo mulabe,
    mmwe ababeera mu Aloweri.
Mubuuze omusajja adduka, n’omukazi atoloka,
    mubabuuze nti, ‘Kiki ekiguddewo?’
20 (O)Mowaabu aswadde kubanga amenyesemenyese.
    Mukaabe muleekaane!
Mulangiririre mu Alunoni
    nti Mowaabu kizikiridde.
21 (P)Okusala omusango kutuuse mu nsi ey’ensenyi
    ku Koloni ne ku Yaza ne ku Mefaasi,
22     (Q)ne ku Diboni, ne ku Nebo ne ku Besudibulasayimu,
23     (R)ne ku Kiriyasayimu ne ku Besugamuli ne ku Besumyoni;
24     (S)ne ku Keriyoosi ne ku Bozula
    ne ku bibuga byonna eby’omu nsi ya Mowaabu ebiri ewala n’ebiri okumpi.
25 (T)Ejjembe lya Mowaabu lisaliddwako,
    n’omukono gwe gumenyese,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

26 (U)“Mumutamiize;
    kubanga ajeemedde Mukama.
Ka Mowaabu yekulukuunyize mu bisesemye bye,
    era asekererwe.
27 (V)Isirayiri tewagisekereranga?
    Baali bamukutte mu bubbi,
olyoke onyeenye omutwe gwo ng’omusekerera
    buli lw’omwogerako?
28 (W)Muve mu bibuga byammwe mubeere mu njazi,
    mmwe ababeera mu Mowaabu.
Mubeere ng’ejjiba erikola ekisu kyalyo
    ku mumwa gw’empuku.

29 (X)“Tuwulidde amalala ga Mowaabu
    amalala ge agayitiridde n’okwemanya,
okwewulira kwe era n’okweyisa kwe
    era n’okwegulumiza kwe okw’omutima.
30 Mmanyi obusungu bwe obutaliimu,” bw’ayogera Mukama Katonda,
    “okwenyumiriza kwe okutaliiko kye kugasa.
31 (Y)Noolwekyo nkaabirira Mowaabu,
    olwa Mowaabu yenna nkaaba,
    nkungubagira abasajja ab’e Kirukeresi.
32 (Z)Nkukaabira ggwe amaziga, nga Yazeri bw’akaaba,
    ggwe omuzabbibu gw’e Sibuna.
Amatabi gammwe geegolola okutuuka ku nnyanja;
    gatuuka ku nnyanja y’e Yazeri.
Omuzikiriza agudde ku bibala byo
    ebyengedde era n’emizabbibu.
33 (AA)Essanyu n’okujaguza biggiddwa ku nnimiro
    ne ku bibanja bya Mowaabu.
Nziyizza okukulukuta kwa wayini mu masogolero;
    tewali asogola ng’aleekaana olw’essanyu.
Newaakubadde nga waliyo okuleekaana,
    okuleekaana okwo si kwa ssanyu.

34 (AB)“Amaloboozi g’okukaaba kwabwe galinnye
    okuva e Kesuboni okutuuka ku Ereyale, n’okutuuka ku Yakazi.
Okuva e Zowaali okutuuka e Kolanayimu n’e Egulasuserisiya,
    kubanga n’amazzi g’e Nimulimu gakalidde.
35 (AC)Ndiggyawo
    abo abawaayo ebiweebwayo mu bifo ebigulumivu e Mowaabu,
    ne bootereza n’obubaane eri bakatonda baabwe,” bw’ayogera Mukama Katonda.
36 (AD)“Noolwekyo omutima gwange gukaabira Mowaabu ng’endere;
    gukaaba ng’endere olw’abasajja b’e Kirukesi.
    Obugagga bwe baafuna buweddewo.
37 (AE)Buli mutwe mumwe
    na buli kirevu kisaliddwako;
buli mukono gutemeddwako
    na buli kiwato kisibiddwamu ebibukutu.
38 (AF)Ku buli kasolya ka nnyumba e Mowaabu
    ne mu bifo awakuŋŋaanirwa,
tewaliwo kintu kirala wabula okukungubaga,
    kubanga njasizzayasizza Mowaabu
    ng’ekibya ekitaliiko akyagala,” bw’ayogera Mukama Katonda.
39 “Ng’amenyeddwamenyeddwa! Nga bakaaba!
    Mowaabu ng’akyusa omugongo gwe olw’obuswavu!
Mowaabu afuuse kyakusekererwa,
    ekyekango eri bonna abamwetoolodde.”
40 (AG)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti:
“Laba! Empungu ekka,
    ng’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo ku Mowaabu.
41 (AH)Ebibuga birikwatibwa
    n’ebigo biwambibwe.
Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Mowaabu
    giribeera ng’omutima gw’omukazi alumwa okuzaala.
42 (AI)Mowaabu alizikirizibwa,
    kubanga yajeemera Mukama.
43 (AJ)Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde,
    mmwe abantu ba Mowaabu,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
44 (AK)“Buli alidduka entiisa
    aligwa mu bunnya,
n’oyo aliba avudde mu bunnya
    alikwatibwa omutego;
kubanga ndireeta ku Mowaabu
    omwaka gw’okubonaabona kwe,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

45 (AL)“Mu kisiikirize kya Kesuboni,
    abadduka mwe bayimirira nga tebalina maanyi,
kubanga omuliro guvudde mu Kesuboni,
    ennimi z’omuliro wakati mu Sikoni,
era gw’okezza ebyenyi bya Mowaabu,
    n’obuwanga bw’abo abaleekaana nga beewaanawaana.
46 (AM)Zikusanze ggwe, Mowaabu.
    Abantu b’e Kemosi bazikiridde,
batabani bo batwaliddwa mu buwaŋŋanguse
    ne bawala bammwe mu busibe.

47 (AN)“Ndikomyawo nate obugagga bwa Mowaabu
    mu nnaku ezijja,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

Omusango Mowaabu gw’asaliddwa gukoma wano.

Read full chapter

23 (A)Ettaka liriba lyonoonese nga lya munnyo n’amayinja agookya, nga tekuyinza kusimbibwako kintu wadde okubaako n’ekimerako, nga n’omuddo tegusobola kumerako. Ensi erifaanana ng’okuzikirizibwa kwa Sodomu, ne Ggomola, ne Aduma, ne Zeboyimu, Mukama bye yazikiriza mu busungu bwe obungi.

Read full chapter

Obubaka Obukwata ku Amoni

49 (A)Ebikwata ku baana ba Amoni bye bino.

Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Isirayiri terina baana balenzi?
    Terina basika?
Lwaki Malukamu atutte Gaadi?
    Lwaki abantu be batutte ebibuga by’e Gaadi?
(B)Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama Katonda,
“lwe ndiraya eŋŋoma ezirangirira olutalo
    ku Labba eky’abawala ba Amoni.
Kirifuuka ntuumu ya mafunfugu,
    n’ebyalo ebiriraanyeewo byokebwe omuliro.
Isirayiri eryoke egobere ebweru
    abo abagigoba,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.
(C)“Kaaba, ggwe Kesuboni, kubanga Ayi kizikiridde!
    Mukaabe mmwe abatuuze b’omu Labba!
Mwesibe ebibukutu mukungubage.
    Mudduke mudde eno n’eri mu bisenge by’ekibuga,
kubanga Malukamu alitwalibwa mu busibe,
    awamu ne bakabona n’abakungu.
(D)Lwaki mwenyumiriza olw’ebiwonvu byammwe,
    ne mwenyumiriza olw’ebiwonvu ebigimu?
Ggwe omuwala atali mwesigwa,
    weesiga obugagga bwo n’ogamba nti,
    ‘Ani alinnumba?’
Ndikuleetako entiisa,
    okuva mu abo bonna abakwetoolodde,”
    bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye.
“Buli omu ku mmwe aligobebwa,
    era tewali n’omu alikuŋŋaanya abadduka.

(E)“Naye oluvannyuma ndikomyawo nate omukisa gy’abaana ba Amoni,”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

Read full chapter

Obunnabbi eri Amoni

25 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, (A)“Omwana w’omuntu, simba amaaso go eri abaana ba Amoni obawe obunnabbi. (B)Bagambe nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama Katonda. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, kubanga mwakuba mu ngalo ne mwogera nti, “Otyo!” ku watukuvu wange bwe wayonooneka, n’ensi ya Isirayiri bwe yafuuka amatongo, ne ku bantu ba Yuda bwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse, (C)kyendiva mbawaayo eri abantu ab’Ebuvanjuba mube bantu baabwe ab’obwannanyini. Balikola olusiisira mu mmwe ne basiisira wakati mu mmwe, era balirya ebibala byammwe ne banywa n’amata gammwe. (D)Ndifuula Labba okubeera eddundiro ly’eŋŋamira ne Amoni ne mufuula ekifo endiga we ziwummulira. Olwo mulimanya nga nze Mukama. (E)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: kubanga wakuba mu ngalo, n’osambagala n’ebigere, n’osanyuka n’ettima lyonna ery’omutima gwo n’osekerera ensi ya Isirayiri, (F)kyendiva nkugololerako omukono gwange era ndikuwaayo okuba omunyago eri amawanga. Ndikusalirako ddala ku mawanga era nkumalirewo ddala okuva mu nsi. Ndikuzikiriza, era olimanya nga nze Mukama.’ ”

Read full chapter

14 (A)Bombi awamu balirumba ne bamalawo Abafirisuuti mu busozi bw’ebugwanjuba;
    era bombiriri balinyaga abantu b’omu buvanjuba.
Baligolola omukono gwabwe ku Edomu ne Mowaabu;
    n’abaana ba Amoni balibagondera.

Read full chapter

Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Mowaabu ebisatu
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yayokya amagumba ga kabaka wa Edomu
    ne gafuuka evvu.
Ndiweereza omuliro ku Mowaabu
    era gulyokya ebigo bya Keriyoosi.
Abantu ba Mowaabu balifiira
    wakati mu kusasamala okungi omuliba okuleekaana n’okufuuwa amakondeere.
(A)Ndizikiriza omukulembeze wa Mowaabu
    n’abakungu baamu bonna, ndibatta,”
    bw’ayogera Mukama.

Read full chapter