Add parallel Print Page Options

19 (A)Obulumi, Ayi Obulumi!
    Neenyoolera mu bulumi!
Ayi obulumi bw’omutima gwange!
    Omutima gunkubagana munda, sisobola kusirika,
kubanga mpulidde eddoboozi ly’ekkondeere,
    mpulidde enduulu z’olutalo.

Read full chapter

11 (A)Ogi kabaka wa Basani ye yali asigaddewo ku Balefa. Ekitanda kye kyakolebwa mu kyuma, nga kiriko mita nnya obuwanvu, n’obugazi bwa mita emu n’obutundu munaana. Kikyaliyo mu Raba eky’Abamoni.

Read full chapter

(A)N’amawanga mangi galibayamba
    okudda mu nsi yaabwe,
n’ennyumba ya Isirayiri ebeere n’abantu
    abamawanga amangi mu nsi ya Mukama Katonda, nga baweereza baabwe abasajja n’abakazi.
Baliwamba abaali babawambye,
    bafuge abo abaabakijjanyanga.

Read full chapter

28 (A)“Kaakano ggwe omwana w’omuntu, wa obunnabbi, oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku baana ba Amoni n’obujoozi bwabwe:

“ ‘Ekitala, ekitala,
    kisowoddwa okutta,
Kiziguddwa okusaanyaawo
    era kimyansa ng’okumyansa kw’eggulu.
29 (B)Newaakubadde nga baakubuulira ebirooto eby’obulimba,
    ne bakuwa obunnabbi obw’obulimba,
ekitala kiriteekebwa ku bulago
    bw’abakozi b’ebibi abookuttibwa,
olunaku be lutuukidde n’ekiseera eky’okubonerezebwa kwabwe
    be kituukidde ku ntikko esemberayo ddala.

30 (C)“ ‘Ekitala kizze
    mu kiraato kyakyo.
Mu kifo mwe watondebwa, mu nsi ey’obujjajja,
    eyo gye ndikusalirira omusango.
31 (D)Ndikufukako ekiruyi kyange,
    ne nkufuuwako omuliro ogw’obusungu bwange,
ne nkuwaayo mu mikono gy’abasajja abakambwe abali ng’ensolo,
    abaatendekebwa mu byo kuzikiriza.
32 (E)Oliba nku za muliro,
    n’omusaayi gwo guliyiyibwa mu nsi yo,
era tolijjukirwa nate,
    kubanga nze Mukama njogedde.’ ”

Read full chapter

(A)“Omwana w’omuntu, simba amaaso go eri abaana ba Amoni obawe obunnabbi. (B)Bagambe nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama Katonda. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, kubanga mwakuba mu ngalo ne mwogera nti, “Otyo!” ku watukuvu wange bwe wayonooneka, n’ensi ya Isirayiri bwe yafuuka amatongo, ne ku bantu ba Yuda bwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse, (C)kyendiva mbawaayo eri abantu ab’Ebuvanjuba mube bantu baabwe ab’obwannanyini. Balikola olusiisira mu mmwe ne basiisira wakati mu mmwe, era balirya ebibala byammwe ne banywa n’amata gammwe. (D)Ndifuula Labba okubeera eddundiro ly’eŋŋamira ne Amoni ne mufuula ekifo endiga we ziwummulira. Olwo mulimanya nga nze Mukama. (E)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: kubanga wakuba mu ngalo, n’osambagala n’ebigere, n’osanyuka n’ettima lyonna ery’omutima gwo n’osekerera ensi ya Isirayiri, (F)kyendiva nkugololerako omukono gwange era ndikuwaayo okuba omunyago eri amawanga. Ndikusalirako ddala ku mawanga era nkumalirewo ddala okuva mu nsi. Ndikuzikiriza, era olimanya nga nze Mukama.’ ”

Obunnabbi ku Mowaabu

(G)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Kubanga Mowaabu ne Seyiri baayogera nti, “Laba ennyumba ya Yuda efuuse ng’amawanga amalala gonna,” (H)kyendiva nswaza oluuyi olumu olwa Mowaabu okutandika n’ebibuga ebiri ku nsalo yaakyo, Besu Yesimosi, ne Baalu Myoni, ne Kiriyasayimu, ekitiibwa ky’ensi eyo. 10 (I)Ndiwaayo abantu ab’e Mowaabu wamu n’abantu ab’e Amoni eri abantu ab’Ebuvanjuba mube bantu baabwe ab’obwannanyini, abantu ba Amoni balemenga okujjukirwanga mu mawanga, 11 era ne Mowaabu ndimubonereza. Olwo balimanya nga nze Mukama.’ ”

Read full chapter