Add parallel Print Page Options

(A)Era ndigabula Abamisiri
    mu mukono gw’omufuzi omukambwe,
era kabaka ow’entiisa alibafuga,[a]
    bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye.

Read full chapter

Footnotes

  1. 19:4 Mu 712, Kabaka Sabaka ow’e Esiyopya n’afuga Misiri

(A)Ggwe Nineeve ggw’osinga Tebesi
    ekyali kizimbiddwa ku mugga Kiyira
    ng’amazzi gakyetoolodde okukikuuma ku njuyi zonna?
Olukomera lwakyo gwali mugga
    era amazzi ge gaali bbugwe waakyo.
(B)Esiyopya ne Misiri ze zaakiwagiranga.
    Ate nga Abapuuti[a] n’ab’omu Libiya nabo nga bakiyamba.
10 (C)Kyawambibwa, ne kitwalibwa mu buwaŋŋanguse.
    Abaana bwakyo abawere babetentebwa mu ntandikwa ya buli luguudo.
Abakungu baakyo baakubirwa obululu,
    n’abasajja be ab’amaanyi baasibibwa mu njegere.

Read full chapter

Footnotes

  1. 3:9 Abapuuti ne Abapuuli balabika nga baali bantu ba mu kitundu kye kimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya