Add parallel Print Page Options

Obunnabbi Obukwata ku Misiri

19 (A)Obunnabbi obukwata ku Misiri:

Laba, Mukama yeebagadde ku kire ekidduka ennyo
    ajja mu Misiri.
Ne bakatonda b’e Misiri balijugumira mu maaso ge,
    n’emitima gy’Abamisiri girisaanuukira munda mu bo.

(B)Era ndiyimusa Abamisiri okulwana n’Abamisiri,
    balwane buli muntu ne muganda we,
    na buli muntu ne muliraanwa we;
    ekibuga n’ekibuga,
    obwakabaka n’obwakabaka.
(C)Abamisiri baliggwaamu omwoyo
    era entegeka zaabwe zonna ndizitta;
era baliragulwa ebifaananyi ebibajje, n’abasamize,
    n’abaliko emizimu n’abalogo.
(D)Era ndigabula Abamisiri
    mu mukono gw’omufuzi omukambwe,
era kabaka ow’entiisa alibafuga,[a]
    bw’ayogera Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye.

(E)Omugga gulikalira
    n’entobo y’omugga ekale ejjemu enjatika.
(F)N’emikutu giriwunya ekivundu,
    n’emyala egiyiwa mu mugga omunene nagyo gikale;
ebitoogo n’essaalu nabyo biwotoke.
(G)Ebimera ebiri ku Kiyira,
    ku lubalama lwa Kiyira kwennyini,
ne byonna ebyasimbibwa ku Kiyira,
    birikala, birifuumuulibwa ne biggweerawo ddala.
(H)Era n’abavubi balisinda ne bakungubaga,
    n’abo bonna abasuula amalobo mu Kiyira
balijjula ennaku, abatega obutimba baliggweeramu ddala amaanyi.
(I)Era nate n’abo abakozesa obugoogwa obusunsule balinafuwa,
    n’abo abaluka engoye enjeru mu linena nabo bakeŋŋentererwe.
10 Abakozi balikwatibwa ennaku,
    bonna abakolera empeera ne baggwaamu omwoyo.
11 (J)Abakulu ab’e Zowani basiruwalidde ddala,
    n’abagezigezi ba Falaawo bye boogera tebiriimu nsa.
Mugamba mutya Falaawo nti,
    “Ndi mwana w’abagezi, omwana wa bassekabaka ab’edda”?
12 (K)Kale nno abasajja bo ab’amagezi bali ludda wa?
    Leka bakubuulire bakutegeeze
Mukama Katonda ow’Eggye
    ky’ategese okutuusa ku Misiri.
13 (L)Abakungu ab’e Zowani basiriwadde,
    abakungu ab’e Noofu balimbiddwa,
abo ababadde ejjinja ery’oku nsonda ery’ebika by’eggwanga
    bakyamizza Misiri.
14 (M)Mukama abataddemu
    omwoyo omubambaavu
era baleetedde Misiri okutabukatabuka mu byonna by’ekola,
    ng’omutamiivu atagalira mu bisesemye bye.
15 (N)Tewali mukulembeze newaakubadde afugibwa,
    agasa ennyo oba agasa ekitono mu Misiri alibaako ky’akola.

16 (O)Ku lunaku luli Abamisiri balibeera ng’abakazi. Balikankana n’entiisa olw’omukono gwa Mukama Katonda ow’Eggye ogugoloddwa gye bali. 17 (P)N’ensi ya Yuda erifuuka ntiisa eri Misiri, buli muntu anagibuulirwangako anatyanga, olw’okuteesa kwa Mukama Katonda ow’Eggye kw’ateesa ku yo.

18 (Q)Ku lunaku olwo walibaawo ebibuga bitaano mu nsi y’e Misiri ebyogera olulimi lwa Kanani, era birirayira okwekwata ku Mukama Katonda ow’Eggye. Ekimu kiriyitibwa Ekibuga Ekyokuzikirira. 19 (R)Ku olwo waliteekebwawo ekyoto kya Mukama wakati mu nsi y’e Misiri, era n’ekijjukizo kya Mukama Katonda kiteekebwe ku nsalo. 20 (S)Kaliba kabonero era bujulizi eri Mukama Katonda ow’Eggye mu nsi y’e Misiri. Kubanga balikoowoola Mukama nga balumbiddwa, naye alibaweereza omulokozi, era abalwanirira, era alibalokola. 21 (T)Noolwekyo Mukama alimanyibwa mu Misiri, n’Abamisiri balimanya Mukama era bamusinze ne ssaddaaka, n’ebirabo era balyeyama obweyamo eri Mukama ne babutuukiriza. 22 (U)Era Mukama alibonereza Misiri, ng’akuba, ate ng’awonya. Nabo balidda gy’ali, balimwegayirira era alibawonya.

23 (V)Ku olwo walibaawo oluguudo olugazi oluva mu Misiri olugenda mu Bwasuli, n’Omwasuli alijja mu Misiri, n’Omumisiri n’agenda mu Bwasuli; n’Abamisiri balisinziza wamu n’Abaasuli. 24 Ku olwo Isirayiri eriba yakusatu wamu ne Misiri n’Obwasuli, baliweesa ensi omukisa. 25 (W)Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye abawadde omukisa, ng’ayogera nti, “Baweebwe omukisa Misiri abantu bange, n’Obwasuli omulimu gw’emikono gyange, ne Isirayiri obusika bwange.”

Footnotes

  1. 19:4 Mu 712, Kabaka Sabaka ow’e Esiyopya n’afuga Misiri

A Prophecy Against Egypt

19 A prophecy(A) against Egypt:(B)

See, the Lord rides on a swift cloud(C)
    and is coming to Egypt.
The idols of Egypt tremble before him,
    and the hearts of the Egyptians melt(D) with fear.

“I will stir up Egyptian against Egyptian—
    brother will fight against brother,(E)
    neighbor against neighbor,
    city against city,
    kingdom against kingdom.(F)
The Egyptians will lose heart,(G)
    and I will bring their plans(H) to nothing;(I)
they will consult the idols and the spirits of the dead,
    the mediums and the spiritists.(J)
I will hand the Egyptians over
    to the power of a cruel master,
and a fierce king(K) will rule over them,”
    declares the Lord, the Lord Almighty.

The waters of the river will dry up,(L)
    and the riverbed will be parched and dry.(M)
The canals will stink;(N)
    the streams of Egypt will dwindle and dry up.(O)
The reeds(P) and rushes will wither,(Q)
    also the plants(R) along the Nile,
    at the mouth of the river.
Every sown field(S) along the Nile
    will become parched, will blow away and be no more.(T)
The fishermen(U) will groan and lament,
    all who cast hooks(V) into the Nile;
those who throw nets on the water
    will pine away.
Those who work with combed flax(W) will despair,
    the weavers of fine linen(X) will lose hope.
10 The workers in cloth will be dejected,
    and all the wage earners will be sick at heart.

11 The officials of Zoan(Y) are nothing but fools;
    the wise counselors(Z) of Pharaoh give senseless advice.(AA)
How can you say to Pharaoh,
    “I am one of the wise men,(AB)
    a disciple of the ancient kings”?

12 Where are your wise men(AC) now?
    Let them show you and make known
what the Lord Almighty
    has planned(AD) against Egypt.
13 The officials of Zoan(AE) have become fools,
    the leaders of Memphis(AF) are deceived;
the cornerstones(AG) of her peoples
    have led Egypt astray.
14 The Lord has poured into them
    a spirit of dizziness;(AH)
they make Egypt stagger in all that she does,
    as a drunkard staggers(AI) around in his vomit.
15 There is nothing Egypt can do—
    head or tail, palm branch or reed.(AJ)

16 In that day(AK) the Egyptians will become weaklings.(AL) They will shudder with fear(AM) at the uplifted hand(AN) that the Lord Almighty raises against them. 17 And the land of Judah will bring terror to the Egyptians; everyone to whom Judah is mentioned will be terrified,(AO) because of what the Lord Almighty is planning(AP) against them.

18 In that day(AQ) five cities(AR) in Egypt will speak the language of Canaan and swear allegiance(AS) to the Lord Almighty. One of them will be called the City of the Sun.[a](AT)

19 In that day(AU) there will be an altar(AV) to the Lord in the heart of Egypt,(AW) and a monument(AX) to the Lord at its border. 20 It will be a sign and witness(AY) to the Lord Almighty in the land of Egypt. When they cry out to the Lord because of their oppressors, he will send them a savior(AZ) and defender, and he will rescue(BA) them. 21 So the Lord will make himself known to the Egyptians, and in that day they will acknowledge(BB) the Lord. They will worship(BC) with sacrifices and grain offerings; they will make vows to the Lord and keep them.(BD) 22 The Lord will strike(BE) Egypt with a plague;(BF) he will strike them and heal them. They will turn(BG) to the Lord, and he will respond to their pleas and heal(BH) them.

23 In that day(BI) there will be a highway(BJ) from Egypt to Assyria.(BK) The Assyrians will go to Egypt and the Egyptians to Assyria. The Egyptians and Assyrians will worship(BL) together. 24 In that day(BM) Israel will be the third, along with Egypt and Assyria,(BN) a blessing[b](BO) on the earth. 25 The Lord Almighty will bless(BP) them, saying, “Blessed be Egypt my people,(BQ) Assyria my handiwork,(BR) and Israel my inheritance.(BS)

Footnotes

  1. Isaiah 19:18 Some manuscripts of the Masoretic Text, Dead Sea Scrolls, Symmachus and Vulgate; most manuscripts of the Masoretic Text City of Destruction
  2. Isaiah 19:24 Or Assyria, whose names will be used in blessings (see Gen. 48:20); or Assyria, who will be seen by others as blessed