Isaaya 23:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Obunnabbi Obukwata ku Tuulo
23 (A)Obunnabbi obukwata ku Tuulo:
Mukube ebiwoobe, mmwe ebyombo by’e Talusiisi,
kubanga Tuulo kizikirizibbwa
ne mutasigala nnyumba newaakubadde ebyombo we biyinza okugobera.
Ekigambo kyababikulirwa
okuva mu nsi ya Kittimu.
Isaaya 23:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Mukama Katonda agolodde omukono gwe eri ennyanja,
n’akankanya obwakabaka bwayo.
Awadde ekiragiro ekikwata ku Kanani
nti ebigo byakyo birizikirizibwa.
Amosi 1:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)kyenaava mpeereza omuliro ku bbugwe wa Ttuulo,
ogunaayokya ebigo byakyo.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.