Add parallel Print Page Options

29 (A)Ensalo n’edda ku Laama n’ekibuga ekiriko ekigo ekya Tuulo ne kyeyongerayo e Kosa n’eryoka ekoma ku nnyanja mu nsi eriraanye Akuzibu,

Read full chapter

Enteekateeka y’Okuzimba Yeekaalu

(A)Awo Kiramu kabaka w’e Ttuulo bwe yawulira nga Sulemaani bamufuseeko amafuta okuba kabaka, ng’asikidde kitaawe Dawudi, n’atuma ababaka be eri Sulemaani, kubanga yali mukwano gwa Dawudi.

Read full chapter

(A)Kubanga olunaku lutuuse
    okuzikiriza Abafirisuuti bonna,
n’okusalako bonna abandisigaddewo
    abandiyambye Ttuulo ne Sidoni.
Mukama wa kuzikiriza Abafirisuuti
    abaasigalawo ku mbalama z’ekizinga Kafutoli.

Read full chapter

Obunnabbi ku Ttuulo

26 Awo olwatuuka mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ku lunaku olw’olubereberye mu mwezi, ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, (A)“Omwana w’omuntu, kubanga Ttuulo yakuba mu ngalo n’ayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Otyo! Omulyango ogw’amawanga gumenyeddwa, era n’enzigi zinzigguliddwa kaakano nga bw’afuuse amatongo, ndigaggawala,’ (B)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nkuvunaana ggwe Ttuulo, ndiyimusa amawanga mangi gakulumbe, ng’ennyanja bw’esitula amayengo gaayo. (C)Balimenya bbugwe wa Ttuulo, ne basuula n’emirongooti gye, era ndiggyawo ebifunfugu bye byonna ne mmufuula olwazi olwereere. (D)Wakati mu nnyanja alibeera ekifo eky’okwanjulurizangamu obutimba obw’ebyennyanja, kubanga nze njogedde bw’ayogera Mukama Katonda. Alifuuka omunyago ogw’amawanga, era ebifo bye eby’oku lukalu kw’abeera birimalibwawo ekitala. Olwo balimanya nga nze Mukama.

(E)“Era Mukama Katonda agamba nti, ‘Ndiweereza Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni kabaka wa bakabaka, eri Ttuulo okuva mu bukiikakkono, ng’alina embalaasi n’amagaali, n’abeebagala embalaasi n’eggye eddene. (F)Alitta n’ekitala abatuuze bo ababeera ku lukalu, era alizimba ebigo okukwolekera, n’ateekawo n’ebitindiro okutuuka ku bbugwe wo n’akwolekeza n’engabo. Alitunuza ebintu bye ebitomera eri bbugwe wo, n’amenyaamenya emirongooti gyo n’ebyokulwanyisa bye. 10 (G)Embalaasi ze ziriba nnyingi nnyo, n’enfuufu yaazo erikubikka era ne bbugwe wo alinyeenyezebwa olw’amaloboozi g’embalaasi ennwanyi, n’olw’ebiwalulibwa n’amagaali bw’aliyingira mu wankaaki wo, ng’abasajja bwe bayingira mu kibuga, nga bbugwe waakyo abotoddwamu ekituli. 11 (H)Embalaasi ze ziririnyirira enguudo zo; n’abantu bo alibatta n’ekitala era n’empagi zo ez’amaanyi zirisuulibwa ku ttaka. 12 (I)Balinyaga obugagga bwo ne babba n’ebyamaguzi byo; balimenya bbugwe wo ne basaanyaawo n’ennyumba zo ennungi, n’amayinja go n’embaawo zo era n’ebifunfugu birisuulibwa wakati mu nnyanja. 13 (J)Ndikomya okuyimba kwo, era n’amaloboozi ag’ennanga zo tegaliwulirwa nate. 14 (K)Ndikufuula olwazi olwereere, era olibeera ekifo eky’okwanjulurizangamu obutimba obw’ebyennyanja. Tolizimbibwa nate, kubanga nze Mukama njogedde, bw’ayogera Mukama Katonda.’ 

15 (L)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda eri Ttuulo nti, Ebifo ebiri ku lubalama lw’ennyanja tebirikankana olw’okubwatuka olw’okugwa kwo, abaliba balumizibbwa bwe balisinda, n’abalala ne battibwa wakati mu ggwe? 16 (M)Olwo abalangira bonna ab’oku lukalu lw’ennyanja baliva ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka ne bambulamu ebyambalo byabwe ne baggyako n’engoye zaabwe ez’emiddalizo. Mu kutya okungi, balituula wansi ku ttaka, nga bakankana buli kaseera nga basamaaliridde. 17 (N)Balikukungubagira ne bakugamba nti,

“ ‘Ng’ozikiriziddwa, ggwe ekibuga ekyatutumuka,
    ekyabeerangamu abantu abalunnyanja.
Wali wa maanyi ku nnyanja, ggwe n’abantu bo,
    watiisatiisanga bonna abaabeeranga ku lubalama lw’ennyanja.
18 (O)Kaakano olubalama lw’ennyanja
    lukankana ku lunaku olw’okugwa kwo,
era n’ebizinga ebiri mu nnyanja
    bitidde olw’okugwa kwo.’

19 (P)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Bwe ndikufuula ekibuga ekirimu ebifulukwa, ng’ebibuga ebitakyabaamu bantu era bwe ndikuyimusizaako obuziba bw’ennyanja, n’amazzi gaayo ne gakubikka, 20 (Q)kale ndikussa wansi ng’abo abagenda mu bunnya eri abaafa edda. Olibeera wansi mu ttaka, mu bifo ebyazika edda ennyo, n’abo abaserengeta mu bunnya, so tojja kudda wadde okufuna ekifo mu nsi ya balamu. 21 (R)Ndikutuusa ku nkomerero embi, so toliwulirwa nate. Balikunoonya, naye toliddayo kulabika,’ bw’ayogera Mukama Katonda.”

Okukungubagira Ttuulo

27 Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, “Kaakano, ggwe omwana w’omuntu tandika okukungubagira Ttuulo. (A)Oyogere eri Ttuulo, ekiri awayingirirwa mu nnyanja, omusuubuzi ow’amawanga ag’oku ttale ery’ennyanja, nti bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ggwe Ttuulo oyogera nti,
    “Natuukirira mu bulungi.”
Amatwale go gakoma mu nnyanja wakati,
    era n’abaakuzimba baakola omulimu ogw’ettendo.
(B)Baakola embaawo zo zonna
    mu miberosi gya Seniri,
ne baddira emivule egy’e Lebanooni
    ne bakolamu omulongooti.
(C)Ne bakola enkasi zo okuva mu myera egya Basani,
    n’emmanga zo, bazikola mu nzo,
ez’oku bizinga ebya Kittimu,
    nga bazaaliiridde n’amasanga.
(D)Ettanga lyo lyali lya linena aliko omudalizo eryava mu Misiri,
    era lyakozesebwanga ebendera;
n’engoye zo zaali za bbululu n’ez’effulungu
    ezaaba ku ttale erya Erisa ekyali ku mabbali g’ennyanja.
(E)Abasajja b’e Sidoni ne Aluwadi be baakubanga enkasi,
    n’abasajja bo abamanyirivu, ggwe Ttuulo, be baali abalunnyanja.
(F)Abasajja abazira ab’e Gebali n’abagezigezi baaberanga mu ggwe,
    era ng’omulimu gwabwe kunyweza emiguwa gy’ebyombo;
ebyombo byonna eby’oku nnyanja n’abagoba baabyo bajjanga okusuubula naawe;
    nga bagula ebyamaguzi byo.

10 (G)“ ‘Abantu ab’e Buperusi, ne Luudi ne Puuti[a],
    baali mu ggye lyo,
era be baawanikanga engabo n’enkuufiira ku bisenge byo
    ne bakuwa ekitiibwa.
11 Abasajja ba Aluwadi n’eggye lyabwe
    be baakuumanga bbugwe wo enjuuyi zonna;
abasajja b’e Gagammada baabanga mu mirongooti gyo
    nga bawanise engabo zaabwe okwetooloola bbugwe wo,
    era be baakulabisanga obulungi.

12 (H)“ ‘Talusiisi yakolanga naawe obusuubuzi obw’obugagga obw’engeri zonna bwe walina, baawanyisanga effeeza, n’ebyuma, n’amabaati n’amasasi bafune ebyamaguzi byo.

13 (I)“ ‘Buyonaani, Tubali, ne Meseki be baakusuubulangako, nga muwanyisaganya abaddu n’ebintu eby’ebikomo bafune ebintu byammwe.

14 (J)“ ‘Ab’omu Togaluma baawanyisaganya embalaasi ez’emirimu egya bulijjo, n’embalaasi ez’entalo, n’ennyumbu bafune ebyamaguzi byo.

15 (K)“ ‘Abasajja ab’e Dedani baasuubulanga naawe, era n’abatuuze ab’oku lubalama lw’ennyanja baali katale ko, nga bakusasula n’amasanga n’emitoogo.

16 (L)“ ‘Edomu baakolanga naawe eby’obusuubuzi olw’obungi bw’ebintu byo; era baawanyisanga naawe amayinja aga nnawandagala, n’engoye ez’effulungu, n’emirimu egy’eddalizo, ne linena omulungi ne kolali n’amayinja amatwakaavu bafune ebyamaguzi byo.

17 (M)“ ‘Yuda ne Isirayiri baakolanga naawe eby’obusuubuzi nga bawaanyisa naawe eŋŋaano eyavanga e Minnisi n’ebyakaloosa, n’omubisi gw’enjuki, n’amafuta n’envumbo, bafune ebyamaguzi byo.

18 (N)“ ‘Olw’obugagga bwo obungi, n’ebintu byo ebingi, Ddamasiko baasuubulanga naawe wayini ow’e Keruboni, n’ebyoya by’endiga ebyeru eby’e Zakari. 19 Aba Ddaani ne Yovani (Buyonaani) abaavanga e Wuzari baawanyisanga naawe ekyuma ekiyisiddwa mu muliro n’embawo eza kasiya ne kalamo, ne bagula ebyamaguzi byo.

20 “ ‘Dedani yakusuubulangako bulangiti ezakozesebwanga ne mu kwebagala embalaasi.

21 (O)“ ‘Buwalabu n’abalangira bonna ab’e Kedali baakusuubulangako era ne bakugulako abaana b’endiga, n’endiga ennume n’embuzi.

22 (P)“ ‘Abasuubuzi ab’e Seeba ne Laama baakolagananga naawe, nga bakusuubulako ebyakaloosa ebisinga byonna obulungi, n’amayinja gonna ag’omuwendo omungi ne zaabu, bafune ebyamaguzi byammwe.

23 (Q)“ ‘Kalani, ne Kaane ne Adeni n’abasuubuzi ab’e Seeba, Asuli, ne Kirumaadi baasuubulanga naawe. 24 Mu katale ko baasubulirangamu engoye ennungi, engoye eza bbululu, n’engoye ez’eddalizo, n’ebiwempe ebineekaneeka ebiriko emiguwa emiruke egyalukibwa obulungi.

25 “ ‘Ebyombo eby’e Talusiisi
    bye byatambuzanga ebyamaguzi byo.
Era wajjula n’oba n’ebintu bingi
    wakati mu nnyanja.
26 (R)Abakubi b’enkasi bakutwala
    awali amayengo amangi.
Naye omuyaga ogw’Ebuvanjuba gulikumenyeramenyera
    wakati mu nnyanja.
27 (S)Obugagga bwo n’ebyamaguzi byo n’ebikozesebwa byo,
    n’abalunnyanja bo,
n’abagoba bo,
    n’abasuubuzi bo n’abaserikale bo bonna
na buli muntu ali ku kyombo balibbira
    wakati mu nnyanja ku lunaku kw’oligwiira ku kabenje.
28 (T)Eddoboozi ly’okukaaba kw’abalunnyanja bo,
    kulikankanya ebyalo ebiri ku lubalama lw’ennyanja.
29 Abakubi b’enkasi bonna
    balyabulira ebyombo byabwe;
n’abagoba n’abalunnyanja bonna
    baliyimirira ku lubalama lw’ennyanja.
30 (U)Baliyimusa amaloboozi gaabwe
    ne bakukaabira nnyo;
era baliteeka enfuufu ku mitwe gyabwe
    ne beevulunga mu vvu.
31 (V)Balikumwera emitwe gyabwe,
    era Balyambala ebibukutu.
Balikukaabira n’emmeeme ezennyamidde
    nga bakukungubaga n’emitima egijjudde ennyiike.
32 (W)Balikukungubagira nga bwe bakuba ebiwoobe
    nga boogera nti,
Ani eyali asirisibbwa nga Ttuulo
    eyeetooloddwa ennyanja?
33 (X)Bwe waweerezanga ebyamaguzi byo ku nnyanja,
    amawanga mangi gamalibwanga;
era ne bakabaka b’ensi
    baagaggawazibwa eby’obugagga bwo ebingi n’ebyamaguzi byo.
34 (Y)Kaakano ennyanja ekumazeewo,
    mu buziba bw’amazzi;
ebyamaguzi byo n’ab’omu kyombo kyo
    bonna babbidde naawe.
35 (Z)Abantu bonna ab’oku lubalama lw’ennyanja
    bafunye ensisi,
era ne bakabaka baabwe bajjudde entiisa
    tebafaananika mu maaso olw’entiisa.
36 (AA)Abasuubuzi ab’omu mawanga bakufuuyira empa;
    otuuse ku nkomerero embi,
    so tolibeerawo nate ennaku zonna.’ ”

Footnotes

  1. 27:10 Puuli ne Puuti bye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya

Obunnabbi ku Kabaka w’e Ttuulo

28 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, (A)“Omwana w’omuntu, gamba omufuzi w’e Ttuulo nti,

“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
    Kubanga olina amalala mu mutima gwo kyova oyogera nti,
‘Ndi katonda,
    era ntuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Katonda wakati mu nnyanja,’
songa oli muntu buntu, so si katonda,
    newaakubadde ng’olowooza nga oli mugezi nga katonda.
(B)Oli mugezi okusinga Danyeri?
    Tewali kyama kikukwekeddwa?
(C)Mu magezi go ne mu kutegeera kwo
    weefunidde eby’obugagga,
n’okuŋŋaanya ezaabu n’effeeza
    n’obitereka mu mawanika go.
(D)Olw’obukujjukujju bwo mu by’obusuubuzi
    oyongedde okugaggawala,
era n’omutima gwo
    gwenyumiririza mu byobugagga bwo.”

Mukama Katonda kyava ayogera nti,

“Kubanga olowooza ng’oli mugezi,
    ng’oli mugezi nga katonda,
(E)kyendiva nkuleetera bannaggwanga ne bakulumba,
    ab’omu mawanga agasinga obukambwe,
ne basowola ebitala byabwe eri obulungi n’amagezi go,
    ne boonoona okumasamasa kwo.
(F)Balikusuula mu bunnya
    n’ofiira eyo okufa okubi
    wakati mu gayanja.
Olyogera nate nti, ‘Ndi katonda,’
    mu maaso gaabo abakutta?
Oliba muntu buntu so si katonda
    mu mikono gy’abo abakutta.
10 (G)Olifa okufa okw’abatali bakomole, mu mikono gya bannaggwanga,
    nze nkyogedde, bw’ayogera Mukama Katonda.”

11 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 12 (H)“Omwana w’omuntu kungubagira kabaka w’e Ttuulo, omutegeeze nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ggwe wali ekyokulabirako ekituukiridde ng’ojjudde amagezi
    era nga watuukirira mu bulungi.
13 (I)Wali mu Adeni,
    ennimiro ya Katonda;
buli jjinja ery’omuwendo nga likubikako,
    sadio, topazi, alimasi, berulo,
    onuku, yasipero, safiro,
    ejjinja erya nnawandagala.
Okuteekebwateekebwa kwo n’ebikunyweza byakolebwa mu zaabu.
    Era ku lunaku lwe watondebwa, byategekebwa.
14 (J)Wali kerubi omukuumi eyafukibwako amafuta,
    nakwawula lwa nsonga eyo.
Wabeeranga ku lusozi olutukuvu olwa Katonda,
    n’otambulira wakati mu mayinja ag’omuliro.
15 Tewaliiko kya kunenyezebwa kyonna
    okuva ku lunaku lwe watondebwa,
    okutuusa obutali butuukirivu bwe bwalabika mu ggwe.
16 (K)Mu bikolwa byo ebingi,
    wajjula empisa embi,
    era n’okola ebibi.
Kyennava nkugoba ku lusozi lwa Katonda,
    mu buswavu obungi ne nkugoba ggwe kerubi eyakuumanga
    okuva mu mayinja ag’omuliro.
17 (L)Omutima gwo gwalina amalala
    olw’obulungi bwo,
ne weelimbalimba
    olw’ekitiibwa kyo.
Kyennava nkukanyuga ku nsi ne nkufuula
    eky’okusekererwa mu maaso ga bakabaka.
18 (M)Olw’ebibi byo ebingi n’olw’obukumpanya bwo
    oyonoonye ebifo byo ebitukuvu.
Kyenava nziggya omuliro mu ggwe
    ne gukusaanyaawo,
ne nkufuula evvu ku nsi
    wakati mu abo bonna abaakulabanga.
19 (N)Amawanga gonna agaakumanya
    gaatya nnyo;
otuuse ku nkomerero embi,
    so tolibeerawo nate ennaku zonna.’ ”

Obunnabbi eri Sidoni

20 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, n’aŋŋamba nti, 21 (O)“Omwana w’omuntu kyuka otunuulire Sidoni, obawe obunnabbi, 22 (P)oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Nkulinako ensonga, ggwe Sidoni,
    era ndyegulumiza mu ggwe.
Balimanya nga nze Mukama
    bwe ndimubonereza,
    ne neeraga mu ye okuba omutukuvu.
23 (Q)Ndiweereza kawumpuli ku ye, era ndikulukusa
    omusaayi mu nguudo ze.
Abafu baligwa wakati mu ye,
    ekitala kimulumbe enjuuyi zonna.
Olwo balimanya nga nze Mukama.

24 (R)“ ‘Tewalibaawo nate eri ennyumba ya Isirayiri omweramannyo ogufumita newaakubadde eriggwa eribafumita okuva mu baliraanwa abalina ettima. Era balimanya nga nze Katonda Ayinzabyonna.

25 (S)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Bwe ndikuŋŋaanya abantu ba Isirayiri okubaggya mu mawanga gye baasaasaanyizibwa, nditukuzibwa mu bo mu maaso g’amawanga, era balituula mu nsi eyaabwe gye nawa omuddu wange Yakobo. 26 (T)Balituula omwo mirembe, era balizimba amayumba ne basimba n’ennimiro ez’emizabbibu. Bwe ndibonereza baliraanwa baabwe bonna abaabayisa obubi, bo baliba batudde mirembe. Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe.’ ”

(A)“Mwe Ttuulo ne Sidoni n’enjuyi zonna ez’Abafirisuuti, mmwe b’ani ku Nze? Nnina kye nabakola kye mugezaako okwesasuza? Bwe munaaba nga mugezaako kwesasuza, ebikolwa byammwe nzija kubibakyusizaako mangwago. (B)Kubanga mwatwala effeeza yange ne zaabu yange n’ebintu byange eby’omuwendo omungi ne mubissa mu masabo gammwe. Mwatwala abantu b’omu Yuda ne mu Yerusaalemi ne mubatunza Abayonaani.

(C)“Laba, ndibaggyayo mu mawanga gye mwabatunda; mmwe mbakole nga bwe mwabakola. (D)Batabani bammwe ne bawala bammwe ndibaguza batabani ba Yuda, nabo balibaguza abantu ab’omu ggwanga ery’ewala ennyo, ery’e Seba.” Ebyo Mukama y’abyogedde.

Read full chapter

(A)Mukama bw’ati bw’ayogera nti,

“Olw’ebyonoono bya Ttuulo ebisatu,
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Kubanga yatunda eggwanga ddamba erya Edomu mu busibe
    n’amenya endagaano ey’obwaseruganda eyali ekoleddwa,
10 (B)kyenaava mpeereza omuliro ku bbugwe wa Ttuulo,
    ogunaayokya ebigo byakyo.”

Read full chapter

(A)era ne Kamasi ekiriraanyeewo nakyo bwe kityo,
    ne Ttuulo ne Sidoni wadde nga birina amagezi mangi.
(B)Ttuulo kyezimbira ekigo
    ne kituuma ffeeza n’eba ng’enfuufu,
    ne zaabu n’eba nnyingi ng’ettaka ery’omu kkubo.
(C)Laba, Mukama alikyambulako ebintu byakyo,
    alizikiriza amaanyi gaakyo ag’oku nnyanja,
    era kiryokebwa omuliro.

Read full chapter

22 (A)Kabaka yalina ebyombo ebya maguzi ku nnyanja ebyakozesebwanga awamu n’ebya Kiramu, ebyaleetanga zaabu, ne ffeeza, n’amasanga, n’enkobe n’enkima eza buli ngeri omulundi gumu mu buli myaka esatu.

Read full chapter

(A)Batabani ba Yivani baali:

Erisa, ne Talusiisi, ne Kittimu ne Dodanimu.

Read full chapter