Yobu 31:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)obanga neeyagala olw’okuba n’obugagga obungi,
oba olw’okuba emikono gyange gy’ali ginfunyisizza bingi;
Zabbuli 52:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)“Mumulabe omusajja
ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye,
naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi,
ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala.”
Zabbuli 62:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Temwesigamanga ku bujoozi
wadde ku bintu ebibbe.
Temuyitirira okwewaanirawaanira mu bugagga bwammwe ne bwe bweyongeranga,
era temubumalirangako mwoyo gwammwe.
Koseya 12:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Efulayimu yeewaana ng’ayogera nti,
“Ndi mugagga nnyo, nfunye ebintu bingi.
Mu bugagga bwange bwonna, tebayinza kundabamu kibi
wadde okwonoona kwonna.”
Koseya 13:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Bwe nabaliisa, bakkuta;
bwe bakkuta ne beegulumiza,
bwe batyo ne banneerabira.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.