Isaaya 24:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Okujaguza kw’ebitaasa kusirise,
n’oluyoogaano lw’abo ababeera mu masanyu lusirise,
entongooli esanyusa esirise.
Ezeekyeri 26:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Ndikomya okuyimba kwo, era n’amaloboozi ag’ennanga zo tegaliwulirwa nate.
Read full chapter
Koseya 2:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Ndikomya ebinyumu bye byonna, n’embaga ze eza buli mwaka,
n’embaga ze ez’emyezi egyakaboneka, ne ssabbiiti ze,
n’enkuŋŋaana ze zonna entukuvu.
Okubikkulirwa 18:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Ekitangaala ky’ettabaaza ng’eyaka
tekirirabikira mu ggwe nate,
kubanga abasuubuzi be wasuubulanga nabo baamanyika nnyo mu nsi yonna,
era walimbalimba amawanga gonna n’eby’obulogo bwo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.