Add parallel Print Page Options

12 (A)Ababeera n’ennanga n’entongooli, ebitaasa n’endere,
    n’omwenge ku mbaga zaabwe;
naye ne batalowooza ku mulimu gwa Mukama Katonda,
    wadde okussa ekitiibwa mu ebyo bye yatonda.

Read full chapter

34 (A)olwo nga nkomezza amaloboozi ag’okusanyuka n’okujaguza, n’eddoboozi ly’omusajja awasa n’ery’omugole we mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi, olwo ensi ng’efuuse matongo.

Read full chapter

(A)Kubanga kino Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ky’agamba nti, “Nga weerabirako n’amaaso go, mu nnaku z’obulamu bwo, ndikomya eddoboozi ery’essanyu era n’ery’okwesiima ery’abagole omusajja ne mukyala we mu kifo kino.

Read full chapter

10 (A)Ndibagobako eddoboozi ery’essanyu era n’okujaguza, eddoboozi ery’awasa omugole n’ery’omugole, eddoboozi ly’olubengo n’okwaka kw’ettaala.

Read full chapter

11 (A)Ndikomya ebinyumu bye byonna, n’embaga ze eza buli mwaka,
    n’embaga ze ez’emyezi egyakaboneka, ne ssabbiiti ze,
    n’enkuŋŋaana ze zonna entukuvu.

Read full chapter

22 (A)Mu ggwe temuliwulirwa nate ddoboozi lya bayimbi,
    n’abakubi b’ennanga n’ery’abafuuyi b’endere, n’ery’abafuuyi b’eŋŋombe.
Mu ggwe temulisangibwamu muweesi
    wadde okuweesa okw’engeri yonna,
newaakubadde okuvuga kw’olubengo nga basa
    tekuliwulirwa mu ggwe.

Read full chapter

13 (A)Ndikomya okuyimba kwo, era n’amaloboozi ag’ennanga zo tegaliwulirwa nate.

Read full chapter