Add parallel Print Page Options

(A)Empisa z’omwonoonyi si za butuukirivu. Akola entegeka ezitali za butuukirivu, alyoke azikirize abaavu n’ebigambo eby’obulimba, ensonga y’abali mu kwetaaga ne bw’eba nga ntuufu.

Read full chapter

(A)Ebigere byabwe byanguyirira bikole ebibi
    era bapapirira bayiwe omusaayi ogutalina musango.
Ebirowoozo byabwe birowoozo bya bubi,
    n’okuzika n’okuzikiriza bye biba buli we bagenda.

Read full chapter

22 (A)Ebyonoono byo mbyezeewo n’embisenda ng’ekire, n’ebibi byo ne mbyerawo ng’olufu olw’omu makya. Komawo gye ndi kubanga nakununula.”

Read full chapter

10 (A)Kubanga ensozi ziyinza okuvaawo n’obusozi okuggyibwawo
    naye okwagala kwange okutaggwaawo tekulisagaasagana
so n’endagaano yange ey’emirembe
    teriggyibwawo,”
    bw’ayogera Mukama Katonda akusaasira.

Read full chapter

18 (A)“Mujje nno tukubaganye ebirowoozo,”
    bw’ayogera Mukama;
“ebibi byammwe ne bwe biba ng’olugoye olumyufu
    binaafuuka byeru ng’omuzira,
ne bwe binaaba bitwakaavu nga langi emyufu enkwafu,
    binaatukula ng’ebyoya by’endiga.

Read full chapter

(A)Muzzeemu Yerusaalemi amaanyi mumubuulire nti,
    entalo ze ziweddewo,
n’obutali butuukirivu bwe
    busasuliddwa.
Era Mukama amusasudde emirundi ebiri
    olw’ebibi bye byonna.

Read full chapter