Add parallel Print Page Options

11 (A)Ekiwuugulu eky’omu ddungu n’ekiwuugulu ekireekaana, birikibeeramu.
    Ekiwuugulu ekinene ne namuŋŋoona birizimbamu ebisu byabyo.
Katonda aligololera ekipimo eky’okwewunika,
    n’ekipimo ekinaaleka Edomu nga njereere.
12 (B)Abakungu be tebalibaako kye bayita bwakabaka,
    n’abalangira be bonna baliggwaawo.
13 (C)Amaggwa galimera ku minaala egy’ekibuga kye,
    n’emyennyango n’amatovu ne bimera mu bigo bye ebyanywezebwa.
Aliyiggibwa ebibe,
    era ebiwuugulu birimufuula ekifo eky’okuwummulirangamu.
14 (D)Ensolo ez’omu ddungu gye zirisisinkana empisi,
    n’embuzi enkambwe ez’omu nsiko gye ziriramusiganyiza.
Era eyo ebisolo ebitambula ekiro nabyo biriwummula
    nga byefunidde ekifo eky’okuwummulirangamu.
15 (E)Ekiwuugulu kiribiikira eyo amagi,
    ne kigaalula,
ne kirabirira abaana baakyo wansi w’ekisiikirize kyakyo.
    Era eyo ne kamunye gy’alikuŋŋaanira, empanga n’enseera.

Read full chapter

14 (A)Ente n’endiga zinaagalamiranga wakati mu kyo,
    n’ensolo zonna eza buli kika:
ekiwuugulu era ne nnamunnungu
    banaasulanga ku mpagi zaakyo.
Amaloboozi gaabyo ganaawulikikanga mu madirisa;
    kafakalimbo ajjudde mu miryango,
    n’emikiikiro egy’emivule giryelulwa.

Read full chapter