Isaaya 41:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)Laba, bonna temuli nsa!
Bye bakola byonna tebigasa.
Ebifaananyi byabwe byonna ebibajje, mpewo na butaliimu.”
Yeremiya 10:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Bakatonda bafaanana nga ssemufu
mu nnimiro y’ebibala,
era tebasobola kwogera
kubanga basitulwa busitulwa tebasobola kutambula.
Tobatya,
tebayinza kukukola kabi konna,
wadde okukola akalungi n’akamu.”
Ebikolwa by’Abatume 19:26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)Kale kaakano, nga mwenna bwe mulabye ne bwe muwulidde, omusajja ono Pawulo asenzesenze abantu bangi nnyo wano mu Efeso ne mu Asiya, okubakkirizisa nti bakatonda abakolebwa n’emikono si bakatonda.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.