Add parallel Print Page Options

19 (A)Bwe baatuuka mu Efeso, banne n’abaleka awo n’agenda n’akubaganya ebirowoozo n’Abayudaaya mu kkuŋŋaaniro.

Read full chapter

28 (A)Nga muli eyo munaasinzanga bakatonda abakolebwa n’emikono gy’abantu, mu miti ne mu mayinja, abatayinza kulaba, oba okuwulira oba okulya, wadde okuwunyiriza.

Read full chapter

(A)Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu,
    ebikolebwa n’emikono gy’abantu.

Read full chapter

10 (A)Ani akola Katonda omubajje oba asaanuusa ekifaananyi ekyole ekitaliiko kye kiyamba?
11 (B)Laba ye ne banne balikwatibwa ensonyi.
    N’ababazzi nabo bantu buntu.
Leka bonna bakuŋŋaane, banjolekere; balikwatibwa ensonyi n’entiisa.
    Ensonyi ziribatta bonna era bagwemu entiisa.

12 (C)Omuweesi akwata ekitundu ky’ekyuma
    n’akiyisa mu manda, agaliko omuliro.
Akikolako n’akitereeza n’ennyondo mu maanyi ge.
    Enjala emuluma,
n’aggwaamu amaanyi,
    tanywa mazzi era akoowa.
13 (D)Omubazzi akozesa olukoba okupima olubaawo
    era n’alamba n’ekkalaamu.
Akinyiriza ne landa,
    n’akiramba kyonna n’ekyuma ekigera,
n’akikolamu ekifaananyi ky’omuntu ng’omuntu bw’afaanana,
    kiryoke kiteekebwe mu nnyumba.
14 Atema emivule oba n’addira enzo oba omuyovu n’agusimba
    oba n’aguleka gukule n’emiti mu kibira,
oba n’asimba enkanaga,
    enkuba n’egikuza.
15 (E)Abantu bagukozesa ng’enku,
    ezimu n’azitwala n’azikozesa okukuma omuliro ne yeebugumya.
    Akuma omuliro n’afumba emigaati.
Naye ekitundu ekirala akikolamu katonda n’amusinza,
    akola ekifaananyi ekikole n’emikono n’akivuunamira.
16 Ekitundu ky’olubaawo akyokya mu muliro,
    ekitundu ekirala akyokesa ennyama
    n’agirya n’akutta.
Ayotako n’abuguma nga bw’agamba nti,
    “Mbugumye, omuliro ngutegedde!”
17 (F)Ekitundu ekisigaddewo akikolamu katonda,
    ekifaananyi ekikole n’emikono,
era n’akivuunamira n’akisinza n’akyegayirira n’agamba nti,
    “Mponya, kubanga ggwe katonda wange.”
18 (G)Tebaliiko kye bamanyi so tebaliiko kye bategeera,
    amaaso gaabwe gazibye n’okuyinza ne batayinza kulaba,
    n’okutegeera ne batayinza kutegeera.
19 (H)Tewali n’omu ayimirira n’alowooza,
    tewali n’omu amanyi wadde ategeera okugamba nti,
“Ekimu ekyokubiri ekyakwo nkyokezza mu muliro,
    era ne nfumba n’obugaati ku manda gaakyo,
    njokezzaako n’ennyama n’engirya.
Ekitundu kyakyo kifuuse eky’omuzizo?
    Nvuunamire ekisiki ky’omuti?”
20 (I)Alya vvu. Omutima gwe gumulimbalimba,
    tasobola kwerokola wadde okwebuuza nti,
    “Kino ekiri mu mukono gwange ogwa ddyo si bulimba?”

Read full chapter

(A)Kubanga empisa ez’amawanga tezigasa;
    batema omuti mu kibira,
    omubazzi n’aguyooyoota n’ebyuma bye.
(B)Bagunyiriza ne ffeeza ne zaabu,
    bagukomerera n’enninga n’ennyondo
    guleme okunyeenyanyeenya.
(C)Bakatonda bafaanana nga ssemufu
    mu nnimiro y’ebibala,
era tebasobola kwogera
    kubanga basitulwa busitulwa tebasobola kutambula.
Tobatya,
    tebayinza kukukola kabi konna,
    wadde okukola akalungi n’akamu.”

Read full chapter

29 (A)“Obanga kino kya mazima nti tuli baana ba Katonda, tetusaana kumulowoozaako ng’ekibajje ekikoleddwa abantu oba ekintu ekyoleddwa mu zaabu oba ffeeza oba ekitemeddwa mu jjinja.

Read full chapter

(A)Kale ku nsonga eno ey’okulya ebiweereddwayo eri bakatonda abalala, tumanyi bakatonda abalala bwe bataliimu nsa. Era tumanyi nga waliwo Katonda omu yekka, tewali mulala.

Read full chapter

20 (A)Naye era abantu abaasigalawo nga balamu oluvannyuma lw’ebibonoobono bino ne bagaana okwenenya ebikolwa byabwe. Ne batalekaayo kusinza baddayimooni n’ebifaananyi ebyakolebwa n’emikono ebya zaabu n’ebya ffeeza, n’eby’ebikomo, n’eby’amayinja n’omuti, ebitalaba yadde okuwulira so n’okutambula tebitambula.

Read full chapter